TOP

Akwana abawala n'ababba poliisi emuggalidde

By Eria Luyimbazi

Added 26th February 2020

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe.

Employed 703x422

Muyimba eyakwatiddwa

Joseph Muyimba, omutuuze w’e Bulenga, poliisi erudde ng’emunoonya oluvannyuma lw’abamu ku bawala be yabba okumulonkoma ku poliisi.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Polly Namaye yagambye nti Muyimba abadde agenda mu bbaala n’ebifo e Kololo n’akwana abawala oluvannyuma n’abateeka mu mmotoka ye ng’abalimbye nti abatwala wuwe okwesanyusaamu kyokka n’abeefuulira n’ababba.

“Twafuna okwemulugunya okuva mu bawala ab’enjawulo nga bwe waliwo omusajja abakwanira mu bbaala oluvannyuma n’ababba era abaserikale baffe ne batandika omuyiggo okutuusa lwe bamukutte nga kati ali mu kunoonyerezebwako.” Namaye bwe yagambye.

Yagambye nti okukwata Muyimba kyaddiridde omu ku bawala be yabba okumulaba mu bbaala emu e Kololo n’addukira ku poliisi y’e Kololo ku kisaawe n’atemya ku baserikale abaagenze ne bamukwata n’emmotoka mw’abadde atambulira nnamba UBD 202U.

Namaye yagambye nti abamu ku bawala abadde ababbira mu loogi gy’abatwala ate abamu n’ababbira mu Mabira oluvannyuma lw’okubalimba nti abatwala Jinja wabula bwe batuuka mu lugendo n’abeefuulira nga n’abamu abaleka bali bwereere kuba engoye zaabwe azitwala. Emisango egisinga abawala baagiggulawo ku poliisi e Mukono.

Mu kwaza emmotoka ye, abaserikale baasanzeemu ebintu eby’enjawulo ng’ebisinga bya bakazi omuli ensawo, engato, lipstick, gaalubindi n’essimu 4 wabula nga teziriimu kkaadi. Muyimba yatwaliddwa ku poliisi y’e Mukono ng’avunaanibwa ku ffayiro SD 64/27/01/2020.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...