TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmotoka y’abagole egudde mu mugga abantu 5 okuli n’abagole ne bafiiramu

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga abantu 5 okuli n’abagole ne bafiiramu

By Musasi wa Bukedde

Added 26th February 2020

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Luke 703x422

Abantu nga beetegereza omugga Saaka omwagudde mmotoka. Mu katono ye Ntabo omu ku baafudde.

Abagole baabadde mu mmotoka ekika kya Premio nnamba UAH140 H nga bagudde mu mugga Saaka ogwabomoka nga gwawula disitulikiti y’e Kaliro ne pallisa.

Abamu ku booluganda baagambye nti baabadde bava okwanjula ku kyalo Gogonyo mu disitulikiti y’e Pallisa nga bagenda ku kyalo Naiwekoke awaabadde wategekeddwa embaga.

Abaafudde kuliko omugole omusajja, Franco Daaza 20, omugole omukazi Sylvia Daliya 18, ddereeva wa mmotoka John Kabweru 35, ssenga w’omugole omukazi Angella Ntabo 30, ssaako ssenga w’omugole omusajja eyategeerekeseeko erya Madina.

Abakyabulidde mu mazzi kuliko omugole omusajja Franco Daaza 20, omugole omukazi Sylivia Daliya 18, ddereeva wa mmotoka John Kabweru 35, ssenga w’omugole omukazi Angella Ntabo 30 ne ssenga w’omugole omusajja eyategeerekeseeko erya Madina.

Abaasimattuse kuliko Patrick Tenywa ne Dan Wabwiire bataata b’omugole omusajjja era baatwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi.

Okusinziira ku ssentebe w’ekyalo Saaka, Anthony Batuli akabenje kaavudde ku ddereeva kubulwa kkubo n’ayingira amazzi.

Yanenyezza Gavumenti olw’okulwawo okubakolera olutindo n’ategeeza nti olutindo lwabomoka emyezi munaana emabega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...