TOP

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

By Musasi wa Bukedde

Added 26th February 2020

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Got12 703x422

Bya Gerrald Kikulwe

OLUVANNYUMA lw'omwaka mulamba ng'emmotoka z'empaka tezivugirwa Jinja, ez'omulundi ogwokubiri ku kalenda y'omwaka guno(NRC)zizzeeyo e Busoga.

Ku Lwokubiri akamweyumwenyu kazze ku matama g'abawagizi ba mmotoka z'empaka okuva e Busoga, ekibiina ekiddukanya omuzannyo mu ggwanga (FMU) bwe kyatongolezza empaka zino ku wooteeri ya Source of the Nile e Jinja era ne kitegeerekeka nti Kyabazinga wa Busoga Wilberforce Gabula Nadyope waakulabikako mu kuzisimbula n’okuziggalawo.

Empaka zino ezituumiddwa 2020 IUEA EMC Jinja Rally,zaakwetooloola disitulikiti ya Mayuge ne Jinja ku wiikendi ya March 6 ne 8,abavuzi 25 be baakewandiisa wabula enkalala ziggalwawo wiiki ejja ku Lwokuna.

John Katari owa Marine time omu ku bategese empaka zino okudda e Jinja agamba nti omuzannyo buli we gubuna ligyoni za Uganda ez'enjawulo, gufuna ettuttumu n'abawagi ekweyongera ekiguleetera okukula.

"Emmotoka z'empaka gwe gumu ku mizannyo egisinga abawagizi mu ggwanga, tujja kukolera wamu ne FMU okulaba nga gubuna Uganda," Katabi bwe yategeezezza.

Alfred Mutanda akoze ku makubo akakasizza ng'ebyokwerinda bwe binnywedde wabula n'asaba abawagizi okubeera ewala n'amakubo emmotoka mweziyita.

"Abavuzi baakutolontoka olugendo lwa kiromita 295 nga 154 ze zivuganyibwako.

 Duncan Mubiru Kikankane y'akulembedde ku ngule y'eggwanga n'obubonero 90

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...