TOP

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde yeezinze

By Musasi wa Bukedde

Added 26th February 2020

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe mu 2011 afudde yeezinze.

Gattako 703x422

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe mu 2011 afudde yeezinze. Mubarak 91, ng’amannya ge amajjuvu ye Muhammad Hosni El Sayed Mubarak yafuga Misiri n’omukono ogw’ekyuma okumala emyaka 30.

Engabo yali akyagirumizza mannyo ng’entebe ekyamuwoomera bannansi ne beekalakaasa okumala ennaku 18 okutuusa amagye lwe gaamukaka okulekulira nga February 11, 2011.

Okuva lwe yava mu buyinza mu 2011, olumbe lubadde lumubala embiriizi n’agattako n’emisango egyamuggulwako amagye olw’okutta abantu n’obuli bwenguzi. We yafiiridde eggulo ku Lwokubiri, yabadde yaakava okulongoosebwa mu lubuto.

Yafiiridde mu ddwaaliro ly’amagye eriyitibwa Galaa Military Hospital mu kibuga Cairo gy’amaze emyezi ebiri ng’ali mu kasenge k’abalwadde abayi ng’obulwadde bwamufungalaza, yenna yeezinze nga si y’oli Mubarak munnamagye eyayogeranga ekigambo kimu, Misiri yonna n’evunnama!

Ku ntikko y’obuyinza n’amaanyi ge nga Pulezidenti wa Misiri, Mubarak eyali ku ddaala ly’amagye erya Air Chief Marshal, ekitiibwa ekisingayo mu ggye ery’omu bbanga, yafufuggaza abooludda oluvuganya nga yeeyambisa etteeka ery’akazigizigi era katono amalire bannansi ba Misiri mu makomera.

Okumanya nga bannansi ba Misiri, baali baamukoowa, ne bwe baamubise abantu baabulijjo tebaalaze kabonero ka kumusaalirwa era abamu baawandiise ku mikutu gya yintaneeti nga bamwekulisa nti Misiri ewonye ‘Ffalaawo’ omulala. Mutabani we omukulu, Alaa Mubarak gye buvuddeko yategeeza Misiri nti embeera ya kitaawe mbi era yeetaaga ssaala.

Kwe kugamba, bwe yafudde, bangi teyabakanze kuba babadde balinda lunaku lwe bamubika. Mubarak yazaalibwa nga May 4, 1928 mu kitundu kya Nile Delta.

Bwe yamala okusoma n’ayingira amagye mu 1949 n’atendekebwa nga payirooti w’ennyonyi ennwaanyi n’agenda ng’alinnya amadaala era okutuuka mu 1972 nga ye muduumizi w’eggye lya Misiri ery’omu bbanga.

Yalwana mu ntalo nnyingi omwali n’olutalo lwa ‘Yom Kippur War’, Misiri mwe yakubaganira ne Yisirayiri mu kitundu ky’e Sinai .

Mubarak yalondebwa ku bumyuka bwa pulezidenti nga April 16, 1975, okutuuka lwe yafuuka Pulezidenti wa Misiri nga October 14, 1981 Pulezidenti Anwar Sadat lwe yatemulwa ng’alambula ennyiriri z’amagye.

 

 

 

 

 

 

 

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye
Hosni Mubarak, bannansi
gwe baanaabira mu maaso
ne bamumaamula ku ntebe mu
2011 afudde yeezinze.
Mubarak 91, ng’amannya
ge amajjuvu ye Muhammad
Hosni El Sayed Mubarak yafuga
Misiri n’omukono ogw’ekyuma
okumala emyaka 30. Engabo yali
akyagirumizza mannyo ng’entebe
ekyamuwoomera bannansi ne
beekalakaasa okumala ennaku 18
okutuusa amagye lwe gaamukaka
okulekulira nga February 11, 2011.
Okuva lwe yava mu buyinza mu
2011, olumbe lubadde lumubala
embiriizi n’agattako n’emisango
egyamuggulwako amagye
olw’okutta abantu n’obuli
bwenguzi.
We yafiiridde eggulo
ku Lwokubiri, yabadde
yaakava okulongoosebwa
mu lubuto.
Yafiiridde mu
ddwaaliro ly’amagye
eriyitibwa Galaa
Military Hospital
mu kibuga Cairo
gy’amaze emyezi ebiri
ng’ali mu kasenge
k’abalwadde abayi
ng’obulwadde bwamufungalaza,
yenna yeezinze nga si y’oli
Mubarak munnamagye
eyayogeranga
ekigambo
kimu,
Misiri yonna
n’evunnama!
Ku ntikko
y’obuyinza
n’amaanyi ge
nga Pulezidenti
wa Misiri,
Mubarak
eyali ku ddaala
ly’amagye erya
Air Chief Marshal,
ekitiibwa
ekisingayo
mu ggye ery’omu bbanga,
yafufuggaza abooludda oluvuganya
nga yeeyambisa etteeka
ery’akazigizigi era katono amalire
bannansi ba Misiri mu makomera.
Okumanya nga bannansi ba
Misiri, baali baamukoowa, ne
bwe baamubise abantu baabulijjo
tebaalaze kabonero ka kumusaalirwa
era abamu baawandiise
ku mikutu gya yintaneeti nga
bamwekulisa nti Misiri ewonye
‘Ffalaawo’ omulala.
Mutabani we omukulu, Alaa
Mubarak gye buvuddeko yategeeza
Misiri nti embeera ya
kitaawe mbi era yeetaaga ssaala.
Kwe kugamba, bwe yafudde,
bangi teyabakanze kuba babadde
balinda lunaku lwe bamubika.
Mubarak yazaalibwa nga May 4,
1928 mu kitundu kya Nile Delta.
Bwe yamala okusoma n’ayingira
amagye mu 1949 n’atendekebwa
nga payirooti w’ennyonyi ennwaanyi
n’agenda ng’alinnya
amadaala era okutuuka mu 1972
nga ye muduumizi w’eggye lya
Misiri ery’omu bbanga.
Yalwana mu ntalo nnyingi
omwali n’olutalo lwa ‘Yom Kippur
War’, Misiri mwe yakubaganira ne
Yisirayiri mu kitundu ky’e Sinai .
Mubarak yalondebwa ku bumyuka
bwa pulezidenti nga April
16, 1975, okutuuka lwe yafuuka
Pulezidenti wa Misiri nga October
14, 1981 Pulezidenti Anwar Sadat
lwe yatemulwa ng’alambula ennyiriri
z’amagye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.