TOP

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero

By Martin Ndijjo

Added 26th February 2020

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa

Bre 703x422

Ttiimu ya Miss Uganda nga bagabira abayizi paadi

Mu kawefube w’okulaba nga abaana ab’obuwala tebava mu masomero nga tebannamalako,

Ab’ekitongole kya Miss Uganda Foundation basse omukago n’aba AFRIpads okutalaaga amasomero nga bagabira abayizi abawala paadi ez’omulembe ng’erimu ku makkubo okulwanyisa ekizibu ky’abayizi abayosa n’okudduka mu somero.

Nga batongoza enkolagaana eno ku mukolo ogwabadde ku somero lya Namugoona High School e Namungoona gye bagabidde abayizi abasobye mu 100 paadi ssaako okubabuulirira n'okubasomesa ku nkozesa yaazo.

 ba pads nga bakwasa aba iss ganda ezimu ku paadi zokugaba Aba AFRIpads nga bakwasa aba Miss Uganda ezimu ku paadi z'okugaba.

Brenda Nanyonjo eyakulembeddemu ttiimu ya Miss Uganda yategezezza nti  okunoonyereza okuze kukolebwa kulaga abawala bangi abamala wakati w’ennaku 15 ne 20 buli ttamu nga tebagenze kusoma buli lwe batuuka mu kiseera ky’okugenda mu nsonga z’ekikyala.

Nanyonjo agamba olw’embeera y’ebyenfuna mu bantu, abazadde bangi tebasobola kugulira baana babwe paadi ate  olw’okutya okuswala mu bannabwe, ekiseera ky’okugenda mu nsonga z’ekikyala bwekituuka abawala abamu basalawo okusigala awaka ate abalala bibatama n’eby’okusoma ne babivako.

 anyonjo ngabuulirira nokusomesa abayizi ku paadi Nanyonjo ng'abuulirira n'okusomesa abayizi ku paadi.

Gertrude Adeker Emojong kulwa AFRIpads yategezezza nti mu ntekateeka eno etuumiddwa ‘school girl kit’ abayizi bagenda kubawa paadi ezisobola okukozesebwa okumala omwaka mulamba ssinga zirabirirwa bulungi ekinaabakuumira mu masomero.

Ye Ronald Ssemaganda akulira esomero lino yasiimye enteekateeka eno, agamba omulamwa gwe baliko mukulu kubanga ekizibu kino kikosezza nnyo abaana era ne gavumenti yeetaga okusituukiramu okuyamba ku masomero n’abazadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi