TOP

Abawala babuutikidde abalenzi mu bya senior 6

By Ahmed Mukiibi

Added 27th February 2020

Abawala babuutikidde abalenzi mu bya senior 6

Sit24 703x422

Bya  AHMED MUKIIBI, KIZITO MUSOKE, MARGARET ZALWANGO

EBYAVA  mu bigezo bya S.6 eby'omwaka 2019  bifulumye   ng’abayizi abaabituula  bataddewo likodi  ey’okuyita  mu bungi okusinga emyaka gyona egiyise.

Minisita w’Ebyenjigiriza, Janat  Museveni afulumizza ebyava mu  bigezo bino leero  ku mukolo ogutegekeddwa ku kizimbe ekya Office of the Prime Minister (OPM)  okumpi ne Palamenti nga gwetabiddwako Minisita avunaanyizibwa ku byenjirizi eby’amatendekero agawaggulu Dr. JC Muyingo , Minista omubeezi ow’Ebyemizannyo Hamson Obua n’ abakungu ba Minisitule  n’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga UNEB.

Muky. Museveni  abadde tannafulumya mu butongole byava mu bigezo ,  UNEB, Dan Odongo ,  yasoose kubyanjula  n’annyonnyola nti  abayizi  101,868  bagenda kufuna  Satifiketi eyitibwa Uganda Advance Certificate of Education (UACE).

Guno gwe  muwendo gw’abayizi abayise ebya S.6 ogukyasinze obunene okuyita ebigezo nga basinze abayizi 95,839 abaayita  ebigezo bye bimu mu 2018 

Odongo annyonnyodde nti  abayizi  104,476  be beewandiisa okutuula  ebigezo bya S.6 mu 2019 kyokka abayizi  103,429 be baabitudde ng’ebibuuzo baabikoledde mu bifo 2,298 ebituulirwamu wakati wa November 11 ne December 2, 2019

Odongo agambye nti abayizi  baayise  bulungi nnyo  era wano kwe kutegeeza nti ku buli 100, abayizi abaayise baabadde ebitundu 98.6 abaabiyitidde mu mitendera egy’enjawulo.

65,723 BEESUNGA YUNIVASITE

Wadde  ng’abayizi abaayise  ebya S6 bali 101,868,   abayizi abaafunye obubonero  obubasobozesa  okufuna ebifo ku Yunivasite  okusomerera diguli  bali 65,723  bokka ate abaafunye obubonero obubasobozesa okufuna ebifo ku matendekero agawaggulu  okusomerera Dipulooma oba Satifiketi bali   23,327, ekitegeeza nti bonna awamu abaafunye obubonero obubongerayo ku Yunivasite  ne ku matendekero  agawaggulu bali 89,050.

Ku bayizi  67,723 abaafunye obubonero obubasobozesa okugenda ku Yunvasite kuliko  abayizi 38,737 abaayitidde  waggulu ennyo nga bano amasomo gonna ag’omuzinzi asatu (3) bagayise.

Abayizi abaayiseeko amasomo agabiri (2) gokka  ku masomo asatu nga bano bali 26,986  nga bano be b’essalira  kwe bakoma okutwala abayizi abagenda ku Yunivasite.

Kino kitegeeza nti wagenda kubaawo okuvuganya okw'amaanyi   mu kufuna ebifo ku zi Yunivasite  ez’omu Uganda  okuli eza Gavumenti n’Obwannanyini  kubanga  zonna awamu zirina ebifo nga 50,000  byokka.

Uganda erimu Yunivasite ezisukka mu 40  nga ku zino kuliko  kkumi  eza gavumenti, ,ezisigadde zonna za bwannannyini era omuyizi okufunayo kkoosi , alina okusasula  ebisale ebyekananye era abazadde b'abayizi abaayise balina okwesiba ebbiri banywere basobole okusasulira abaana baabwe kkoosi eza  Diguli  oba Dipulooma eza waggulu.

Minisita Museveni awadde amagezi abayizi abaawerezza bubonero bwa Yunivasite n’amatendekero awawaggulu, obutanyooma kkoosi naddala  ez’ebyemikono n’okutendekebwa mu by’ekikugu ebirala kubanga  basobola bulungi okuyita mu kubo eryo ne batuuka ku Yunivasite.

 1,433 BAGUDDE.

Omuwendo gw’abayizi abaagudde ebya S.6 gubadde wansiko bwogeraageranya abaabigwa mu 2018 n’emyaka emirala egiyise.

Odongo ategeezezza nti abayizi abaagudde bali 1,433 nga bano bali ebitundu 1.4 ku 100 eby’abayizi bonna abatudde ebya S6.

Mu bya S.6 ebya 2018, abayizi abaagwa baali 1489 nga bano nabo baali ebitundu 1.4 ku 100 eky’abayizi abatuula mu 2018

Abaagudde, Minisita  Museveni yabawadde amagezi okuddamu basinziire buto, nti balina omukisa okuyita.

 

ABAWALA BASINZE ABALENZI 

Omuwendo gw’abalenzi abatula  bya S6  gukyali waggulu okusinga abawala nga ku mulundi guno, abalenzi abaatudde baabade 60,039 sso nga abawala abaabadde 43,262.

Abalenzi baasinze abawala okuyita mu bungi ku mitendera gyonna  kyokka Odongo annyonnyodde nti bawala  baasinze abalenzi mu kuyita obulungi ku mitendera gyonna

Odongo yategeezezza nti  abalenzi abaayise bali  58,979 songa abawala abaayise bali 42,889.

Abalenzi abaafunye obubonero obubasobozesa okweyongerayo ku Yunivasite bali 36,363 sso nga abawala abaafunye obubonero obubatwala ku Yunivasite  bali  29,360.

Wabula mu abawala abaagudde baabadde batono bwogeraageranya  ku balenzi nga baabadde 373  bokka songa abalenzi abaagudde bali1,060

Wabula  Odongo  yategeezezza nti   wadde abawala abaabadde batono bwogerageranya ku baasinze abalenzi mu kuyita obulungi   ku mitendera gyonna.

ABALINA OBULEMU BAKOZE BULUNGI.

Omuwendo bw’abayizi abalina obulemu abaatudde ebya S. 6 gweyongedde nga ku luno 205 be baabitudde  ne basinga obungi abayizi 177 abaabituula mu 2018.

Odongo ategeezezza nti abayizi  abalina obulemu abaatudde kwabaddeko 116 abalenzi n’abayizi 89 abawala era bonna baakoze bulungi  nga Denis Kaalalagho owa Iganga Secondary School ye yasinze mu bamuzibe, Christine Mugisha Ahabwe owa Gayaza High School ye yasinza mu bulina obuzi mu kwogera  are Josepgh Joel Odongo owa Merryland High n’asinga mu balina obuzibu n’okuwulira (bakiggala) 

EBYA ABAYIZI 126 BIKWATIDDWA

Omuwendo gw’abayizi be baakwatidde ebigezo gweyongedde obungi okusinga ku batuula mu 2018.

Ku luno abayizi 129 be baakwatidde ebigezo songa omwaka 2018, abayizi 91 be baakwatira ebigezo ate mu 2017 be baakwatira ebigezo baali 79.

Odongo yategeezezza nti  abayizi 126 be baakwatidde ebigezo baatuulira mu masomeo 24 n’agamba nti ng’ekola ya UNEB bw’eri, abayizi bagenda kuweebwa omukisa okwennyonnyolako.

Yagambye nti ebibuuzo ebyo byakwatiddwa oluvannyuma lw’okwekeneenya empapula z’abayizi kwe baakoleredde wamu ne lipoota okuva mu baabirondoola ne bazuula nga waliwo okubayambako,  n’obamu okukoppa obutereevu naddala mu masoso ga Ssaayansi ag’okugezesa.

ABAYIZI BAKYESAMBYE  SSAAYANSI

Ebyavudde mu bigezo byalaze nti abayizi bakyesabye okutwala amasomo aga Ssaayansi , ekintu Odongo kye yaloopedde Minisita Museveni nti kabonero si kalungi.

Yagambye nti ku bayizi bonna abaatudde ebigezo bya S6,  ebitundu 30.7 ku 100 bokka be baatutte essomo lya Math,  ebitundu 16.2 ku 100 be baatutte essomo lya Chemistry, abayizi ebitundu  10.9 ku 100 bokka be baatutte essomo lya Physics ate abayizi 14 ku 100 be baatutte essomo lya Biology .

 

OMUTINDO GUKYALI WANSI

Odongo yategeezezza Minisita Museveni nti lipoota okuva mu baagolodde ebya S6 yennyamiza kubanga yalaze nti omutindo gw’abayizi  gukyali wansi.

“ Nnyabo Minisita,  kikuba encukwe nti abayizi abasinga balina obuzibu obw’okwennyonnyolako mu Lungereza n’okutegeera obulungi Olungereza okusobola okuddamu mu bituufu ebibuuzo bya bwe bibasuubirwa okubiddamu”, Odongo bwe yagambye.

Odongo yagambye nti waliwo omuze ogukutte abayizi n’abaamasomero  nga tebakyafaayo kutegeera n’okunnyonnyoka ebintu wabula balina engeri gye bakubirirakubirira  nga bagenderera okuyita ebibuuzo era kino kireese akanyamberege ak’amaanyi.

Yawadde eky’okulabirako ky’ekibuuzo ekyali mu kigezo ky’oluganda gye baabuuliza abayizi okunyonnyola kye bategeera mu ‘Kaasuze katya’.  Ne yeewunya nti abayizi abasinga baalandukira  ku birala bangi ne bawandiika mukolo gwa kwanjula n’okukola embaga, ekiragira ddala nti  tebategeerera ddala kyali kibabuuziddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono