TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Muyingo akubirizza amatendekero okussa essira ku masomo agalina akatale

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero okussa essira ku masomo agalina akatale

By Ponsiano Nsimbi

Added 28th February 2020

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero okussa essira ku masomo agalina akatale

Kim1 703x422

Minisita Muyingo ng'ayogera eri abayizi

MINISITA w’ebyenjigiriza ebyawaggulu J.C.Muyingo asabye abakulira amatendekero okusomesa abayizi amasomo aganabayamba okuvuganya mu katale ke mirimu.

Bino abyogeredde ku matikkira g’ettendekero lya Global Institute of Information Technology & Business,Makerere agw’omulundi ogw’okuna.

Agambye nti guno omulembe abantu tebakyabuuza diguli meka omuntu z’alina wabula obukugu n’obusoobozi  kwebasinziira okuwa omuntu omulimu.

Abakulira   amatendekero abawadde amagezi okulekerawo okusomesa amasomo agatatunkana na mbeera ya katale k’emirimu mu ggwanga.

Ate abayizi yabalabudde obutagezaako kwenyigira mu bikolwa bya kwekalaakasa,obuli bw’enguzi n’okwekuma nga balamu Ssaako okubeera abetoowaze.

Ben Opolot omutandisi we ttendekero lino asabye gavumenti  okubakendereza ku bisale bye bigezo bye kitongole kya Uganda  Business and Technical Examination Board (UBTEB) ebiri waggulu ate ng’abayizi babikola buli lusoma.

Omukolo gwetabiddwako n’omukunganya w’olupapula lwa Bukedde Geoffery Kulubya ,abazadde n’abayizi  nga wabaddewo okwolesa ebitone n’ebintu ebirala ebisomesebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....