TOP

Katikkiro w’ekika ky’Emmamba alekulidde

By Moses Kigongo

Added 1st March 2020

OBUNKENKE bweyongedde mu kika ky’Emmamba (Gabunga), Katikkiro Omutaka Luyombo Kagenda bw’alekulidde olw’enjawukana n’entalo ezisusse mu kika.

Tj 703x422

Luyombo (ku ddyo) ng’addiriddwa Gabunga mu lukiiko olumu gye buvuddeko. Ayimiridde ye Dr. Kimala.

Ebbaluwa erekulira yagiwandiikidde Gabunga Mubiru Zikwa nga Febuary 28, 2020, n’amutegeeza nti;

“Kinnuma okukuddiza obwami, kyokka nkikoze olw’enjawukana eziri mu kika n’entalo eziri mu bazzukulu bo. Ndekulidde bwe kiba nga (okulekulira) kye kigenda okutuyamba okwegatta n’okutwala emirimu gy’ekika mu maaso”.

Mu bbaluwa, Kagenda yayiseeyise mu bimu ku by’atuuseeko n’olukiiko lwe mu kiseera ky’amaze ku bwakatikkiro okuli; eky’okulambika Ssaabasajja nti ekika kyabwe bakitambuliza ku nnono n’enkulaakulana bwe yabalambula ku butaka e Sagala omwaka oguwedde (2019), pulojekiti ez’enjawulo Nkajja ne Gabunga Educational Center; okuwandiisa ettaka ly’ekika mu ba “trustees”, okuwa Gabunga omukisa okwetengerera ng’alamula ekika kye, okulongoosa ekiggwa kye Bubiru n’ebirala bye yagambye nti yabibalambikira mu lukiiko lw’ekika gye buvuddeko.

Wabula ensonda zaalaze nti okulekulira kuno Gabunga yakugaanye era n’amusaba okugira ng’asigala mu kifo kye okutuusa bwe baneetereeza ng’ekika.

Bino we bijjidde nga Gabunga yaakamala okuwummuza olukiiko lwe olukulemberwa Luyombo okumala emyezi 6 olwa kye yayise obutamuwa lipoota ku ssente z’okuggulawo bbanka y’ekika n’okumugulira mmotoka ye.

Ebbaluwa ewummuza olukiiko yasomeddwa George Ssenkaali, omu ku bawi b’amagezi ba Gabunga ab’oku ntikko mu lukiiko lwa bannamawulire olwakubiddwa ku ofiisi y’ekika e Lubaga gye buvuddeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka