TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyakwatiddwa mu bubbi bw'emmotoka amenye akaduukulu ka Poliisi n'adduka

Eyakwatiddwa mu bubbi bw'emmotoka amenye akaduukulu ka Poliisi n'adduka

By Saul Wokulira

Added 5th March 2020

OMUSIBE amenye akaduukulu ka poliisi ya Kayunga town council mu disitulikiti y'e Kayunga n'adduka.

Kadu2 703x422

Akaduukulu omusibe ke yamenye n'atoloka n'adduka!

Sazir Kamoga ng'oluusi yeeyita Umar omutuuze w'e Namagabi A ye yatolose n'aleka abasirikale nga batangadde.

Ono yakwatiddwa ku musango gw'okubba emmotoka ya Hajat Habiba Nakamatte kika kya SPACIO nnamba UAQ 409G.

Kamoga yakubye ekituli mu siiringi n'ayuzza ebbaati mweyayise okudduka.

Hajati Nakakate nnannyini mmotoka eyabbibwa agamba nti wandibaawo ekkobaane  wakati wa poliisi ya Kayunga Town counvil n'omusibe kubanga bwe yamenye akaduukulu yagenze mu ofiisi n'aggyayo engatto, omusipi, waleti ye n'ebintu bye ebirala n'agenda nabyo.

"Kinneewunyisa nti omusibe eyali atolose yafune atya obudde okugenda mu ofiisi ate nga yali nsibe n'ajjayo ebintu bye, eryo kobaane lyenyini," Hajati Nakamatte bwe yagambye.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto yagambye nti baatandise dda okuyigga omusibe ono wabula nga we yatolokedde yabaddemu yekka mu kaduukulu.

 

 

 

 

 ajati akakate nanyini mmotoka eyabbibwa Hajati Nakakate nanyini mmotoka eyabbibwa

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks