TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu muggye eby'okubalaatira mu nsonga z'enzige - Minisita Ssempijja

Abantu muggye eby'okubalaatira mu nsonga z'enzige - Minisita Ssempijja

By Muwanga Kakooza

Added 10th March 2020

GAVUMENTI erabudde abantu okukomya okusaagira mu nsonga z’enzige ezaazinda Uganda n’egamba nti bwe zitakwatibwa bulungi ziyinza okuletera eggwanga lino obulabe obw’amaanyi.

Jung 703x422

Minisita Ssempijja

Gavumenti enzige yazitaddeko abajaasi ba UPDF  abasoba mu 2,000 abali mu kuzifuuyira era ensimbi ezisoba mu buwumbi 15 ze zakasasanyizibwa ku nsonga eno nga ne naggagga Bill Gates n’ebitongole ebirala byasuubizizza  okwongera sente mu lutalo luno.

Minisita w’ebyobulimi ,obulunzi  n’obuvubi Vincent Bamulangaki Ssempijja eyabadde n’omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eno, Pius Wakabi Kasajja bino baabitegeezezza bannamawulire ku Media Centre mu Kampala.

Ne balaga okunyolwa nti abantu bali mu kusaagira ku nsonga z’enzige ng’abamu balooza  nti byapangibwa kulirako ssente.

‘’Abantu balowooza enzige zaategekebwa kulirwako ssente. Ssi ffe twaleeta enzige. Bannange ebintu tebisaanye kusaagirwamu’’ Ssempijja bwe yagambye.

N’agamba nti enzige za bulabe nnyo kuba zaatondebwa mu ngeri ezisobozesa okwerwanako zokka omuli  emu okubiika amagi agasoba mu 300 olubiika lumu lwokka ng’ate zitambulira mu bibinja bukadde na bukadde.

Era ng’amagi gasobola n’okumala mu ttaka emyaka musanvu nga tegaluddwa okutuusa nga gafunye embeera egayamba okweyalula. Kino yagambye nti kiretedde gavumenti okulamba buli we ziba ziyiseeko ssi kulwa nga zirekawo amagi.

Ng’oggyeeko, Sempijja yagambye nti enzige zirina empuliziganya yaazo nga  bwe wabaawo ekigwaawo emu esobola okutemya ku ndala ne zibuukira mu bibinja.

Ssempijja yagambye nti obuzibu gavumenti bw’efunye bwa kuba ng’eddagala ezifuyira lyonna eryetaagisa terinaggwaayo olw’okuba gye likolerwa e Japan amawanga mangi agalyetaaga.

Yayongedde nti okuliggya e Japan lijja lya buwunga ne litabulirwa e Kenya. Kyokka nga Kenya yataddewo obukwakulizo nti nga terinaletebwa mu ggwanga eryo abakugu baayo balina kusooka kugenda Japan bakakase ob ssi lya bulabe. Kino yagambye nti kirwisizza eby’okulireeta liggweeyo.

Yagambye nti enzige nzibu nnyo kuba abazifuyira balina kukikola kiro era bwe zisukka essaawa 3:00 (satu) ez’emisana nga zipaala era eb y’okuzifuyira nga babivaako.

Ebintu ebyakulembibwa enzige kuliko Bugisu, Lango , Acholi, ne Sebei  era nga zizinzeeko disitulikiti 27.

Yayongedde enzige zikyayongera okuyingira mu Uganda ng’ezimu ezaali zigenze e South Sudan ate zakomyeewo kuno.

Waliwo ezekweese mu bifo awakumirwa ebisolo by’omu nsiko ng’eno gavumenti tenetantala kugendayo olw’okutya okuleeta obulabe ku bisolo bino.

Ekibiina kya Bill Gates and Merinda Foundation basuubizza okuwa ekitundu ky’obuvanjuba bwa Afrika obukadde bwa ddoola 20 (eza Uganda obuwumbi 60),bbanka y’ensi yonna n’esuubiza ensimbi ze zimu. Era n’ebitongole ebirala bingi nabyo  ne bikola kye kimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’