TOP

Paapa avuddeyo ku bya Coronavirus

By Muwanga Kakooza

Added 10th March 2020

PAAPA Francis akunze bafaaza obutaba batiitiizi bave mu bigo bagende babudebude n’okusabira abakwatiddwa obulwadde bwa ssenyiga omupya (COVID 19 ) atirimbula abantu mu bitundu by’ensi ebitali bimu.

Popefrancisnews23549901 703x422

Paapa Francis

‘’Tusaba Katonda awe bafaaza obuvumu bagende balambule n’okubudabuda abalwadde… era bawerekere n’abasawo n’abantu abalala abali ku mulimu gw’okujjanjaba abakwatiddwa obulwadde buno’’ Paapa Francis bwe yategeezezza  ng’ali mu mmisa eyabaddemu abantu ab’olubatu eyabadde mu kibangirizi kya St. Peters Square e Vatican.

E Italy esangibwa ekitebe kya Klezia e Vatican  ssenyiga yakatta abantu 463 ng’ate abasoba mu 9,000 balwadde.

Y’emu ku mawanga 100 agaalumbiddwa obulwadde buno obwatandikira e China ku nkomerero y’omwaka oguwedde. Bwakakwata abantu emitwalo 11 mu mawanga agatali gamu.

Italy yataddewo kalantiini w’abantu obutamala geetaaya ng’etangira obulwadde buno era mu kiseera ky’okusaba kuno ku Lwokubiri abantu baabadde ba lubatu ng’abasinga tebambadde bukokolo nga bwe kiri mu bitundu ebirala ebirimu ssenyiga ono g’ali.

Mu Uganda ssenyiga tanatuuka kyokka naye eri ku bunkenke nga yazizzaayo ba yinvesita 22 ku Mmande olw’obutagondera biragiro byassibwawo gavumenti kutangira bulwadde buno.

Buli ajja mu Uganda alina kusooka kukeberwa okuzuula oba tabulina.

Gavumenti ya Italy yagaanyi abantu okumala gatambula era n’ebagamba nti n’okwewala abalwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’