TOP

Sheebah yeetondedde nnyina olw’ennyambala ye

By Martin Ndijjo

Added 11th March 2020

SHEEBAH Karungi yeetondedde nnyina olw’engeri gy’ayambalamu ku siteegi n’agamba nti takikola lwa kwagala wabula embeera gy’akoleramu y’emuwaliriza.

Sheeba2 703x422

Sheebah bw’atera okwambala.

Sheebah eyabadde omukkakkamu yasoose kufukamira wansi ne yeebaza nnyina Kabazungu okumukuza wamu ne baganda be abalala mukaaga wadde nga baayita mu mbeera ey’okutoba ennyo (yali akolera mu kkampuni ya mmwaanyi ng’afuna omusaala gwa 2,000/-). “Nkimanyi kikutwalidde ebbanga okutegeera ebintu bino bwe mbikola naye nkwebaza okutegeera obwongo bwange n’ebinvaamu eky’ennyambala n’otokitwala nga nsonga nkulu.” Sheebah bwe yayogedde ng’afukamidde.

 heebah ngafukamidde okwetondera nnyina Sheebah ng’afukamidde okwetondera nnyina.

 

Sheebah omu ku bayimbi abamanyiddwa okwambala enkunamyo yagasseeko nti, “mmaze ebbanga nga maama munnyonyola nti siyita bwereere ng’abantu abamu bwe balowooza.

Munda nteekamu obugoye nga busatu obufaanana omubiri gwange era olumu bw’abeerawo mbumulaga akakase nti kye njogerako kituufu.” Okwogera bino yabadde ku Pearl Of Africa Hotel ku mukolo kwe yatongolezza bizinensi ye ey’okukola ppaadi.

Asoomoozezza abayimbi okwetandikirawo emirimu Sheebah asoomoozezza bayimbi banne okweyambisa ebitone byabwe okwekulaakulanya n’okutegekera obulamu bwabwe obw’omu maaso.

Abawadde amagezi obutamala gajaajaamya ssente ze baba bafunye kubanga okuyimba kulinga sizoni era si mulimu gwa buli lunaku. Yabakubirizza okufaayo okwetandikirawo emirimu emirala bakomye okusabiriza. “Mukama abadde mulungi gyendi, mu myaka 10 gye mazze nga ndi muyimbi ow’erinnya nfunye obuwagizi obw’amaanyi era abantu bampadde ssente kwe kusalawo okubaako bizinensi endala gye ntandikawo okwetegekera obulamu bwange obw’omu maaso.

abazungu wakati maama wa heebah ngatudde ne nnyina omuto ku ddyoKabazungu (wakati) maama wa Sheebah ng’atudde ne nnyina omuto (ku ddyo).

 

Kabazungu (wakati) maama wa Sheebah ng’atudde ne nnyina omuto (ku ddyo). Sheebah bw’atera okwambala. Bya MOSES NSUBUGA POLIISI ya Jinja Road eyimbudde abavubuka 11 be yakutte nga bateeberezebwa nti be baakubye Bebe Cool obucupa mu kivvulu kya Cindy Sanyu e Lugogo ku Lwomukaaga. Okuyimbulwa kyaddiridde Bebe okubasonyiwa n’agamba nti ayagala babeere ekyokulabirako eri bavubuka bannaabwe abeeyisa bwe bati nga bagufudde muze okukuba abayimbi abawagira NRM obucupa mu bivvulu. Ekyokulabirako Bebe ky’ayogerako kya kubasonyiwa gusoose ate ogusembye nti bwe baliddamu ne bakwatibwa basibira Luzira. Bebe eyabadde ku poliisi ya Jinja Road ku Lwokubiri, yabuuliridde abavubuka bano ng’abasinga baategeezezza nga bwe batalina mirimu nti babe bagumiikiriza kubanga ne bwe giba mirimu bajja kugifuna kasita beekuuma nga balamu n’okwewala okwenyigira mu bikolwa ebikyamu. Yategeezezza nti yatuukiriddwa bazadde baabwe, bakyala baabwe n’abeηηanda abalala nga balaajana babayimbule kwe kusalawo akikole nga bwe yasabiddwa. Abagambibwa

 

Busobola okukya ku makya nga sikyasobola kuyimba oba nga nfunye obuvune nga ssente nnina kuzifuna walala so si ku siteegi,” bwe yayongeddeko.

Omukolo gwetabiddwaako abantu bangi okwabadde; Nnamasole w’Obukama bw’e Toro, Best Kemigisha, Minisita Godfrey Suubi Kiwanda, abayimbi ne bannakatemba. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono