TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannayuganda balabuddwa ku bufere obuli mu kutwala abantu e bweru

Bannayuganda balabuddwa ku bufere obuli mu kutwala abantu e bweru

By Benjamin Ssebaggala

Added 12th March 2020

Bannayuganda balabuddwa ku bufere obuli mu kutwala abantu e bweru

Tap16 703x422

Revecca Kadaga wakati, Kassimu Ssali ku ddyo ne Harimah Namakula ku kkono

KASSIM Ssali ategeka Ugada kwekwaffe mu Edmonton Canada alabudde Bannayuganda okwewala abafere kubanga waliwo abeerimbika mu linnya ly’ekibiina ky’akulembera ne baggya ku bantu sente.

Ssali ategeezezza Bukedde nti omwezi ogujja April olukung’aana Bannayuganda lwe beeyunira luli mu kibuga Edmonton e Canada olugenda okwetabibwamu Sipiika Rebecca Kadaga ne sipiika wa palamenti ya East Africa Martin Ngoga.

Ssali bino abitegeezezza Bukedde oluvannyuma lw’okusisinkana Francis Peter Ojede akulira The Uganda National Cultural Centre (UNCC) ku National Theatre mu Kampala.

Mu nsisikano eno mwe bakkaanyirizza nti Ojede ng’agenze mu lukungaana mu kibuga Edmonton Canada gye bagenda okuteekera omukono ku ndagaano okutumbula eby’obuwangwa bya Bannayuganda ebweru.

eter jede ku kkono ne assim sali ku ddyoPeter Ojede ku kkono ne Kassim Ssali ku ddyo

 

Ekiseera kino Ssali Ssali akulira Uganda Culture in Diaspora era sentebe w’olukiiko olutegeka olukung’aana lwa Uganda Kwekwaffe ali mu kibuga Edimonton wabula ayongedde okulabula Bannayuganda okwerinda abafere.

Ng’oggyeko abakulembeze bebyobufuzi ku mitendera egy’enjawulo ng’Ababaka ba palamenti abagenda okwetaba mu lukung’aana luno, n’abakola eby’obulimi baakulufunamu.

Bagenda babangula abantu okuva e Uganda ku nnima ey’omulembe n’okukozesa tekinologiya ow’omulembe n’okubakwataganya n’Abazungu abasobola okubagulako bye balima.

Abayimbi abasuubirwa mu lukung’aana luno olugenda okubeerawo omwezi ogujja kwekuli Harunah Mubiru Kitooke ne Halimaha Namakula ng’omulamwa bagutadde ku kutumbula buwangwa.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...