TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munnayuganda eyagenda ku kyeyo ne bamukwatirayo aweereza abooluganda obubaka ng'alaama!

Munnayuganda eyagenda ku kyeyo ne bamukwatirayo aweereza abooluganda obubaka ng'alaama!

By Joseph Mutebi

Added 14th March 2020

FFAMIRE y’omukazi Munnayuganda eyakwatiddwa e Saudi Arabia esobeddwa eky’okukola.

Tunda 703x422

Byakatonda mutabani wa Nanyonga ne Herbert Messach Kiberu muliraanwa nga basobeddwa.

Ruth Nannyonga eddoboozi lye yasembye okuweereza aba ffamire ye yagambye nti, ‘Maama Sandra nkubuulira ebigambo byange bino ebisembayo mukwano, abaana bo babeerewo, batuule bakkakkane, bategeere nti, omuntu akeera ku makya n’afa.’

Yagasseeko nti, ‘Maama Sandra bwentyo bwe ηηenze mukwano, nfubye nga bwe nsobola ne nnemererwa, ekifo kye nfi iriddemu bakiyita Jeddah naye ng’enkwe ze nfi iriddemu zonna zaava ku mukama wange eyantwala bwe balaba nti obaguddemu, ojja kudda e Uganda oyogera ekituufu nti abaana babatunda era babatta, naawe balina kukutta.’

Okuva ku Mmande lwe yaweerezza eddoboozi lino, aba ffamire tebazzeemu kumuwuliza n’essimu gye yabadde akozesa yavuddeko.

Yagasseeko nti, baabadde bamusibidde mu kifo we basibira abaana era bangi be yabadde alabye nga babasse mu kifo kino.

Ebigambo bino, yabadde abigamba muliraanwa we ku kyalo Kazinga – Lugoba mu ggombolola y’e Nabweru mu Munisipaali y’e Nansana amukuumire abaana be be yaleka. Yamwegayiridde amuyambe alabirire abaana be, k’aba aliddeko n’abaana be, abaweeko nga bwe bakula batandike okwetakulira.

Mu katambi akalala yagambye nti, ‘Ensi bw’etyo, twagala nnyo ssente ez’obwereere, abaana bagambe beegendereze ensi n’abantu be bakolagana nabo, twajja eno kutetenkanyiza baana naye bigaanyi, obulamu bugenda.’

Richard Byakatonda mutabani wa Nannyonga omukulu asoma ku ttendekero e Kyambogo yagambye nti, nnyina yagenda mu October 2018.

Kkampuni ya Triple World Group Ltd. esangibwa e Wakaliga mu Kampala, ye yamutwala.

Yagasseeko nti, nnyina yatwalibwa n’abantu abalala era ennyonyi eyabatwala, yasooka kuyitira Ethiopia n’oluvannyuma ne yeeyongerayo e Saudi Arabia.

Bba wa Nannyonga, Benon Barugahare omuvuzi wa takisi ku siteegi y’e Bwaise mu ppaaka enkadde yagambye nti, bakkiriziganya ne mukyala we agende ebweru anoonye ku ssente kubanga embeera mu Uganda yali ekalubye.

Yagambye nti, oluvannyuma lw’okuwuliriza obutambi mukyala we bwe yaweerezza muliraanwa waabwe, amaanyi gaamuweddemu.

Ono yagambye nti, amaloboozi gaabakubye entiisa ey’amaanyi kubanga n’eddoboozi lya Nannyonga lyakyuse okwawukana ku lye babadde bamanyi.

BAASOOSE KWAGALA KUMUWA BUTWA

Messach Herbert Kiberu muliraanwa wa Nannyonga yagambye nti, ebizibu byonna Nannyonga byalina essaawa eno, byatandika wiiki bbiri eziyise mu maka ga mukama we eyamugula ng’atuuse e Saudi Arabia.

Yagambye nti, mu bye yabannyonnyodde, yabategeezezza nti, baasoose kwagala kumuwa butwa bwe baabadde bateze mu buwunga wabula omutima ne gumukubira nti, bye bamuwadde byandiba nga si bituufu.

Yagambye nti, yakubye e Uganda essimu n’abuuza ebigambo ebyabadde biwandiikiddwa ku buwunga bwe baamuwadde n’akizuula nti bwabadde butwa n’adduka.

“Bwe yadduse, yatambudde kiwalazzima n’asanga ekikomera nga kiringa kifulukwa mwe yasuze abakuumi abaamulabye ne bategeeza poliisi n’emukwata.” Kiberu bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti, abaserikale bwe baamukutte, baakubidde mukama we gye yabadde adduse ne bamumuddiza ne mukama we n’amukwasa nnyina (wa mukama we) eyamututte mu ddwaaliro kyokka oluvannyuma n’alagira ne bamuggyayo ne bamuzza awaka.

Yagambye nti, ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro, waliwo abasajja babiri abaamukimye awaka nga bamugambye nti, baabadde bamukomyawo Uganda ne bamulaga ne tikiti y’ennyonyi n’ensawo gye baabadde bamugulidde gy’akomawo nayo.

Kyokka ye Nannyonga mu butambi bwe yaweerezza yagambye nti, tikiti y’ennyonyi yabadde ya kicupuli era tebaamututte ku kisaawe kulinnya nnyonyi, baamututte mu kiyumba gye bakuηηaanyiza abawala Bannayuganda n’abalala abatwalibwa e Saudi Arabia okukola, ekiri okumpi n’ekisaawe ky’ennyonyi ekya Abdullah Aziz Airport.

Nannyonga mu Uganda yaleka abaana bana, bba be yagambye nti, tamanyi bw’agenda kumalako nabo kubanga mukyala we y’abadde aweereza ssente ezibabeezaawo n’okusasula ennyumba.

OMUKAZI Y’ALIKO OBUZIBU – ABAAMUTWALA;

Nannyonga okugenda ku kyeyo, yayitira mu kkampuni bbiri. Yasooka kutuukirira aba Afrisan abaamukwasa kkampuni ya Triple World.

Benson Mulokozi akulira kkampuni ya Afrisan bwe yatuukiriddwa yagambye nti, ensonga za Nannyonga yabadde azitegeddeko era kkampuni ya Triple World y’ezivunaanyizibwako okulaba ng’akomezebwawo e Uganda.

Kyokka ono obuzibu bwonna yagambye nti, buli ku Nannyonga kubanga baamugulira tikiti y’ennyonyi akomewo e Uganda wabula n’asalawo okudduka oluvannyuma lw’okufuna olugambo okuva mu bawala abaliyo nti bw’aneewaggula ku bakama be, ajja kufuna omulimu omulala omulungi.

Ku by’okusibwa kwa Nannyonga yagambye nti, e Saudi Arabia poliisi bw’ekwata omugwiira yenna, bamuteeka we bakuumira abantu ab’okutikkibwa ku nnyonyi okuzzibwa ewaabwe era Nannyonga poliisi erabika yamuteeka mu kimu ku bifo ebyo nga bwe bamukolera ku by’okumukomyawo mu Uganda.

Ono ebisingawo yajulizza Tomson Mwesigwa akulira kkampuni ya Triple World kyokka ono bwe twamutuukiridde ku ssimu, yagambye nti, ensonga za Nannyonga azimanyi wabula tezirina we zimukwatirako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka