TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddagala lya Siriimu lyandiba nga lifunyise: Omuntu owookubiri abadde amulina awonye

Eddagala lya Siriimu lyandiba nga lifunyise: Omuntu owookubiri abadde amulina awonye

By Muwanga Kakooza

Added 14th March 2020

OMUSAJJA ow’emyaka 40 e Bungereza abadde omulwadde wa siriimu asambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw’abasawo okumujjanjaba mu ngeri ey’ekikugu ennyo n’awona obulwadde buno! Ono ye muntu owookubiri eyaakajjanjabwa n’awona akawuka ka siriimu!

Thumbwhyarvtreatmentis5a8190ba4a841 703x422

Amakerenda g'eddagala lya Siriimu

Kyokka abakugu balabudde nti kino tekisaanye kweyibaaza bantu kudda mu bwenzi kuba eyawonye teyawonedde ku makerenda gaweweeza kawuka ka siriimu agaliwo kati.

Baakozesezza enkola ey’ekikugu ey’okufuna obutoffaali bw’omubiri obwamuweereddwa abazirakisa abalina ‘omusaayi ogulina amaanyi agalwanyisa endwadde era si nnyangu kukolebwa ku buli muntu ate ng’eyinza n’okumuviirako okufa nga bamujjanjaba.

Adam Castillejo, 40, ye yakoze emitwe gy’amawulire ku mikutu egy’ensi okuli ogwa BBC, CNN n’empapula z’amawulire e Bungereza ne Amerika abasawo bwe baakakasizza nti yawonye akawuka.

Yakeberwa ng’alina akawuka ka siriimu mu 2003 era n’atandika okuweebwa eddagala eriweweeza obulwadde okutuusa mu 2012.

Mu mwaka oguwedde embeera yasajjuka bwe yafuna obulwadde bwa kookolo abakugu basalawo okumuggyamu obusomyo bw’omu magumba obwa kookolo nabwo obwali bumusumbuwa ne bamussaamu obulala obwamuweebwa abazirakisa.

Abazirakisa bano baalina obutoffaali bw’omubiri obutakwatibwa siriimu era olwabumussaamu naye n’awona.

Omulwadde ono eyakaziddwaako ‘’London patient’’ eyava mu ggwanga lya Venezuela, abasawo balangiridde nti takyalina siriimu bwe bamukebedde ne batamuzuulamu kawuka emyezi 30 bukya akoma kumira ddagala.

Abanoonyereza ku yunivasite ya Cambridge mu Bungereza babadde bamukebera okumala emyezi 18 ne batamuzuulamu kawuka ka siriimu ng’okunoonyereza n’okujjanjaba kuno kwakuliddwa Prof. Rayindra Gupta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’