TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabalabirizi alaze engeri y’okwewala Coronavirus

Ssaabalabirizi alaze engeri y’okwewala Coronavirus

By peter ssaava

Added 15th March 2020

SSAABALABIRIZI, Dr. Stephen Kazimba Mugalu awadde ebirina okukolebwa Abakristaayo mu masinzizo okwewala ekirwadde kya Coronavirus. Mu kiwandiiko kye yafulumizza ku Lwokutaano, Kazimba yawadde ebintu 9 ebirina okugoberebwa.

Uni 703x422

Ssaabalabirizi Kazimba

Mu kiwandiiko kye yafulumizza ku Lwokutaano, Kazimba yawadde ebintu 9 ebirina okugoberebwa.

lOkukozesa omukisa gw’enkuhhaana ennene okusomesa abantu ku kirwadde kino ssaako bwe balina okweyisa okutangira okusaasana.

lMu kiseera ky’okubatiza, yasabye abo bonna ababatiza n’abayima okunaaba mu ngalo ne ssabbuuni nga tebannabatiza. Yasabye bannaddiini obutasitula baana ne babatiza, wabula bazadde baabwe be baba babasitula.

l Mu kusembera, bannaddiini balina okunaaba mu ngalo n’amazzi ne ssabbuuni. lOkubuuzaganya n’okweyagaliza emirembe, Abakristaayo basaanye obutayisihhanya mikono oba okwegwa mu bifuba. Buli omu alina okuba ekitono ennyo mmita 2 okuva awali munne ng’ekyandisaanye okukola kwewuubirako. lKu mikolo egy’enjawulo omuli embaga, okuziika, okusaba kw’ekiro, okusaba kwa Ssande n’emikolo emirala mwewale okuwaanyisiganya emikono.

lOkuteekako abaana emikono eri Abalabirizi, bannaddiini balina okuba abeegendereza ate banaabe engalo. Abateekebwako emikono balina okunaaba akadagala akagoba obuwuka nga tebannagenda we babateerako emikono.

lAbaawule, Ababuulizi n’abakulembeze abalala mu kkanisa basabiddwa okusabira abalwadde. Dr Kazimba yagambye nti bano bwe bakyalira abalwadde, balina okwambala engoye ezibakuuma obutasiigibwa kirwadde kino.

lEkkanisa zonna zirina okussaawo ekifo abantu we banaabira eddagala eritangira ekirwadde

lEkkanisa zonna zirina okuteekawo ebifo mwe banaabira engalo okuliraana kaabuyonamayonjo ne ssabbuuni.

 

 

SSAABALABIRIZI, Dr. Stephen
Kazimba Mugalu awadde ebirina
okukolebwa Abakristaayo mu
masinzizo okwewala ekirwadde
kya Coronavirus.
Mu kiwandiiko kye yafulumizza
ku Lwokutaano, Kazimba
yawadde ebintu 9 ebirina okugoberebwa.
lOkukozesa omukisa
gw’enkuhhaana ennene okusomesa
abantu ku kirwadde kino
ssaako bwe balina okweyisa
okutangira okusaasana.
lMu kiseera ky’okubatiza,
yasabye abo bonna ababatiza
n’abayima okunaaba mu ngalo
ne ssabbuuni nga tebannabatiza.
Yasabye bannaddiini obutasitula
baana ne babatiza, wabula bazadde
baabwe be baba babasitula.
l Mu kusembera, bannaddiini
balina okunaaba mu ngalo
n’amazzi ne ssabbuuni.
lOkubuuzaganya
n’okweyagaliza emirembe,
Abakristaayo basaanye
obutayisihhanya mikono
oba okwegwa mu bifuba.
Buli omu alina okuba
ekitono ennyo mmita
2 okuva awali munne
ng’ekyandisaanye okukola
kwewuubirako.
lKu mikolo egy’enjawulo
omuli embaga, okuziika,
okusaba kw’ekiro, okusaba
kwa Ssande n’emikolo
emirala mwewale okuwaanyisiganya
emikono.
lOkuteekako abaana
emikono eri Abalabirizi,
bannaddiini balina okuba
abeegendereza ate banaabe
engalo. Abateekebwako emikono
balina okunaaba akadagala
akagoba obuwuka nga tebannagenda
we babateerako emikono.
lAbaawule, Ababuulizi
n’abakulembeze abalala mu
kkanisa basabiddwa okusabira
abalwadde.
Dr Kazimba
yagambye
nti bano bwe
bakyalira
abalwadde,
balina okwambala
engoye
ezibakuuma
obutasiigibwa
kirwadde kino.
lEkkanisa
zonna zirina
okussaawo
ekifo abantu
we banaabira
eddagala
eritangira ekirwadde
lEkkanisa
zonna zirina
okuteekawo
ebifo mwe banaabira engalo
okuliraana kaabuyonamayonjo ne
ssabbuuni.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana