TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Kamya ayingidde mu nsonga z'ettaka ly'ekkanisa erikaayanirwa

Minisita Kamya ayingidde mu nsonga z'ettaka ly'ekkanisa erikaayanirwa

By Ponsiano Nsimbi

Added 15th March 2020

MINISITA w’ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya ayingidde mu nkaayana z’ettaka lya kkanisa ya St. Peter’s Church of Uganda mu Ndeeba n'agamba nti abasengula Abakrisitaayo tebagoberera mateeka.

Thumbnailndeeba6 703x422

Bino biddiridde Kamya okuteeka aduumira poliisi y'e Katwe David Eradu ku nninga annyonyole engeri abantu gye basengulwamu natandika okutamwatamwa oluvannyuma lwa ba ssentebe Emmanuel Kizza  LCI ne Samuel Kalanzi owa II okumwegaana nga batategezebwako nga bawannyondo batteka ekiragiro kya kkooti mu mbuga.

Kamya yasoose  mu kusaba okwakulembeddwamu Rev.Augustine Kayemba ku ssomero lya Happy Years Nursary  school eriri ebusuka kkubo wa kkanisa we yategereza ng’omulabirizi we Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira yamuwandikira nga minisita ng’amusaba ayingire mu nsonga z’ettaka lya kkanisa kwe kusalawo okutuuka ku ttaka amanyire ddala ekigenda mu maaso.

Oluvannyuma yesoze akafuubo aketabiddwamu Epedu,Rev.Kayemba nabakulembeze be kkanisa era oluvannyuma yategeezezza nga buli kimu ekyakolebwa bwekyali kimenya amateeka nagamba nti agenda kukola okunoonyereza ku yeyita nanyini ttaka nengeri ebyapa ebisuka mu kimu gye byakolebwa ku ttaka lino.

Rev. Kayemba yakubiriza Abakrisitaayo okusigala nga baakakamu n’okwebaza Katonda olw’ebyonna by'abayisizaamu okuva lwe bagwoba mu kkanisa.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....