TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka asazizzaamu okulambula kwe mu ssaza ly'e Buddu

Kabaka asazizzaamu okulambula kwe mu ssaza ly'e Buddu

By Dickson Kulumba

Added 16th March 2020

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asazizzaamu okulambula kwe kwabadde agendako mu ssaza ly’e Buddu okutandika n’olunaku lw’enkya okutuusa ku Lwokutaano March 20,2020.

Mayigamuliro2 703x422

Okulangirira kuno kukoleddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olw’eggulo lwa leero e Bulange- Mmengo n'ategeeza nga Kabaka bwatakyasobodde kulambula kitundu kino kyabadde amaze ebbanga eddene nga tatuukamu nti era olunaku olulala lwakulangirirwa.

“Ffena tumanyi nti Ssabasajja lwalambula abantu bakungana bangi nnyo ate olw’okuba bakunganira mu kifo awayinza okubeera obuzibu kwaani  ayingira n’afuluma n’engeri y’okwetangira obulwadde buno,Ssabasajja asiimye abantu be ab’e Kakuuto ajja kubalambula olulala, okulambula kwe’omulundi kuyimirizibwe tumale okwetegereza embeera y’obulamu nga bweeri,” Mayiga bwagambye.

Katikkiro Mayiga yebazizza bonna ababadde mu nteekateeka z’okulambula kwa Kabaka mu bitundu by’e Kakuuto ne Mutukula n’asaba baleme kuggwamu ssuubi, embeera y’ebyobulamu mu ggwanga bweneterera wakujja abalambule.

“Neebaza mwenna abakoze enteekateeka ezibaddewo ez’okwaniriza Omutanda okuli abazimbye ebiyitirirwa, abakulembeze ab’Obwakabaka okuli Pokino,Ssentebe wa disitulikiti y’e Kyotera n’abalala abeenyigi naye olw’embeera nga bweri mu nsi ndowooza kikulu okwetangira akabi akayinza okuva mu nteekateeka eno ey’okulambula. Tubasaba mubeere baguminkiriza, Ssabasajja ajja kujja abalambule nga tumaze okwetegereza embeera era nga tukakasizza nti tewali bulabe bwa bulwadde buno obwa Corona Virus obuyinza okukwata abantu,” Mayiga bweyagaseeko.

Mu ngeri y’emu Katikkiro Mayiga agenze mu maaso n’okukubiriza abantu okugula tikiti z’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ng’embeera y’ebyobulamu bw'enabeera ennungi,emisinde gyakugenda mu maaso kyokka bwenabeera embi gyakusazibwamu nga bweriterera, Kabaka waakulonda olunaku ajje asimbule abo abaguula emijoozi era badduke mu kulwanyisa mukenenya.

“Naye kyokka mbakubiriza mugende mu maaso nga mugula emijoozi egy’emisinde singa olwa April 5,2020 lutuuka ng’embeera si nnungi era naggyo gisobola okuyimirizibwa. Bwerunatuuka ng’embeera nnungi nga tugenda nga tudduka tulwanyise mukenenya. Bwerunatuuka ng’embeera mbi,tujja kufuna olunaku olulala olw’okumpi, Ssabasajja ajje abawuubire,tudduuke tulwanyise mukenenya,” Mayiga bweyayogedde ku misinde.

Kabaka abadde wakutandika okulambula ku Lwokuna March 19, 2020 n’okulambula Obutaka bw’Ababiiot b’e Ssanje era akomekereze olugendo lwe ku lw’okutaano March 20,2020 n’okusaala ku muzikiti e Mutukula ku nsalo ya Uganda ne Tanzania.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....