TOP

Olw'e Canada balusazizzaamu

By Benjamin Ssebaggala

Added 19th March 2020

BANNAYUGANDA ababadde beesunga olugendo lw’e Canada okwetaba mu lukung’aana lwa Uganda Kwekwaffe ekirwadde kya ssennyiga omukambwe kirinnye eggere mu ssanyu lyabwe.

Indu 703x422

Kassim Ssali pulezidenti wa Uganda Culture in Diaspora era sentebe w’olukiiko olutegeka olukung’aana lwa Uganda Kwekwaffe

Kino kivudde ku mbeera eriwo nti Canada yasazizzaamu Visa z’abagwira okutuusa nga May 15, 2020.

Wano Kassim Ssali pulezidenti wa Uganda Culture in Diaspora era sentebe w’olukiiko olutegeka olukung’aana lwa Uganda Kwekwaffe ategeezezza nti olukung’aana lwa April balusazizzaamu ne baluzza mu August nga bwe balinda embeera okutereera.

Uganda Kwekwaffe balugasse n’ebikujjuko bya Uganda Culture in Diaspora ebirina okubeerawo ku ntandikwa ya August.

Ssali yagambye nti newankubadde waliwo okutataaganyizibwa kuno, naye abaali basasudde era sente zabwe zisigala zikola nga bwe bawandiika abapya okutandika ne April.

“Enjawulo egenda okubeerawo kwekubeera nti olukung’aana olusaziddwamu lubadde lwa nnaku bbiri kyokka lwe bagenda okubeeramu nga Katonda akkirizza lujja kubeera lwa nnaku ttaano” Ssali bw’aggumiza.

 

Kino wekijjidde nga kikwatagana n’ebiragiro ebiweebwa okwetoloola ensi yonna, abamu ababadde basuubirwa mu Lukung’aana luno ye Sipiika Rebecca Kadaga kyokka yawadde ebiragiro nga tewali mubaka ateekwa kutambula kusukka nsalo ya Uganda.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogera eri eggwanga yalagidde Bannayuganda okwewala okutambula okugenda mu mawanga agakoseddwa wadde okulinnya ennyonyi eyitirayo.

Canada yeemu ku mawanga agasooka okukosebwa ekirwadde kya Coronavirus era Sophie Grégoire Trudeau mukyala wa Katikkiro yalangirira nti naye kyali kimukutte.

Abayimbi Bannayuganda abalindiridde okuggulawo kalantiini basobole okwetaba mu lukung’aana luno kuliko: Haruna Mubiru, Stecia Mayanja, Lady Jazmin, Hudson Baliruno,Halima Namakula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...