TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakulira ppaaka e Busega babaze amateeka amakakali okutangira Coronavirus

Abakulira ppaaka e Busega babaze amateeka amakakali okutangira Coronavirus

By Joseph Mutebi

Added 19th March 2020

ABAKULIRA ppaaka y’e Busega ku luguudo lwa Northern Bypass, bataddewo amateeka amakakkali okutangira akawuka ka Coronavirus okusobola okukaziyiza obutakwata abasaabaze abakozesa takisi zaabwe eri oyo anaagaana okusookanga okunaaba mu ngalo si waakukkirizibwa kuzisaabaliramu.

Busegataxisparkcoronabyjmutebi6 703x422

Abasaabaze nga banaaba mu ngalo nga tebannayingira mu takisi. Ebifaananyi bya JOSEPH MUTEBI

ABAKULIRA ppaaka y’e Busega ku luguudo lwa Northern Bypass, bataddewo amateeka amakakkali okutangira akawuka ka Coronavirus okusobola okukaziyiza obutakwata abasaabaze abakozesa takisi zaabwe eri oyo anaagaana okusookanga okunaaba mu ngalo si waakukkirizibwa kuzisaabaliramu.

“Ekigambo kya Pulezidenti w’e ggwanga libeera tteeka era oyo kiwuliriza abeera alina ebibye byeyenoonyeza ng’omuntu, n’ekirala engeri yokka eriwo mu kiseera kino okutaasa obulamu bwa Bannayuganda abawera kunaaba nga mu ngalo ng’ab’ebyobulamu bwe batugambye era buli analinya takisi yaffe alina kusooka kunaaba mu ngalo” bwatyo amyuka akulira ppaaka eno Julius Balemezi bweyategeezezza.

Balemezi okwogera bino kyaddiridde Pulezidenti Museveni okuyisa ebiragiro eby’enjawulo ku ssenyiga w’e China okusobola okulaba nga tumulwanyisa era mu ppaaka eno bagaddewo dda emiryango ettaano egibadde giyingira ne wasigala ggumu gwokka okusobola okulaba nga buli ayingira mu ppaaka eno asooka kunaaba.

Bakira abamu ku basaabaze abeeyita abawagula  ennyo bwe batuuka mu ppaka basooka kugaana kunaaba mu ngalo wabula abagikulira abakulemberwa Balemezi nga bafunvubira okubakiriza okulinya takisi zabwe era oluvannyuma ne bapondooka okukakkana nga bazinabye.

Ssentebe wa ppaaka eno Muhammed Muwonge yatuukiridde aduumira poliisi y’ekitundu kino atula e Katwe ne bamusaba abaawe ku baserikale abanakuuma ppaaka yabwe okuteeka mu nkola ekiragiro kya pulezidenti eri abo abanagaana okugobereera amateeka n’abasubiza okubawa abaserikale bana balamba.

Yayongeddeko nti wadde eddagala lye bagula abasaabaze lye bakozesa okunaaba mu ngalo, sabuuni n’amazzi bitwala ssente nnyingi naye balina okufuba okulaba ng’omulimu gwabwe bagukuuma nga weguli obutaguwera ng’abantu ssenyiga abakutte.

Basabye ne gavumenti ebayambe ebagulire ku ddala  n’obukofiira abantu bwe bambala okutangira akawuka kano era ne basaaba ne pulezidenti Museveni agira aggalawo ensalo za Uganda n’e nsi enddagala gattako n’ekisaawe ky’e nnyonyi okutangira Bannayuganda okufa ng’e nkoko kubanga ssenyiga ono ava mu mawanga g’aberu.

 

 

 

alt=''

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....