TOP

Kabaka ayimirizza emikolo

By Dickson Kulumba

Added 19th March 2020

KABAKA Ronald Mutebi asazizzaamu emikolo gy’okukuza Amazaalibwa ge omwaka guno. Alagidde abantu buli omu asinziire mu makaage bamwegatteko okujaguza okuweza emyaka 65.

Kaba 703x422

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'asoma obubaka bwa Kabaka

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ye yalangiridde okusalawo kwa Kabaka kuno eggulo mu Bulange - Mmengo n’agamba nti, Kabaka ayagala abantu be okubeera abalamu noolwekyo kibadde kikulu okuyimiriza emikolo gino.

Kuno yagasseeko okuyimiriza emikolo gyonna egibadde girina okubeerayo e Mmengo okutuusa ennaku 32, Gavumenti mwe yaweeredde enkuhhaana zonna nga kiweddeko. Emikolo gy’Amazaalibwa gibadde gigenda kubeerawo nga April 13, 2020 ku Lutikko e Lubaga.

“Ku lunaku lw’Amazaalibwa tubasaba mujja kwambala emijoozi gy’emisinde gye muguze, mwekubye ebifananyi nga mujaguliza wamu ne Kabaka nga twebaza Katonda olw’okumuwa obulamu obulungi. Tujja kufuna obubaka okuva ku Lutikko e Lubaga, nange hhenda kuwa obubaka kw’olwo eri abantu okuyita mu mikutu gy’amawulire,” Mayiga bwe yategeezezza.

Mayiga era yasabye bannaddiini bonna okusabira Kabaka nga beebaza Katonda olw’okukuuma Kabaka n’atuuka ku mikolo gy’Amazaalibwa. “Tusaba abantu baffe okugoberera ebiragiro ebyaweereddwa Gavumenti n’abasawo. Mwewale okukyalira bakadde bammwe, n’okutambulatambula kw’abaana. Okunaaba mu ngalo kikulu, temwekwata mu masso, ku nnyindo n’ebifo ebirala n’engalo enkalu”, Mayiga bwe yawabudde.

Emikolo emirala Mmengo gy’eyimirizza: kuliko okwabya olumbe lw’omugenzi John Luswata taata wa Nnaabagereka, emikolo gy’Olukiiko lwa Buganda, emikolo Katikkiro gy’abadde alina okwetabako okuli okwanjula n’embaga, emizannyo, okutongoza ebibiina n’emirala. Katikkiro yayongeddeko nti, ofiisi z’Obwakabaka zigenda kusigala nga zikola nga ne kabineeti eteesa nga bakozesa tekinologiya aliwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....