TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Soma ku ngeri 'Coronvirus' gy'atadde ensi ku bunkenke n'ebiragiro amawanga ag'enjawulo bye gafulumizza

Soma ku ngeri 'Coronvirus' gy'atadde ensi ku bunkenke n'ebiragiro amawanga ag'enjawulo bye gafulumizza

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2020

EMBEERA mu Yitale eyongedde okutabuka omuwendo gw’abakwatiddwa ssennyinga omukambwe (coronavirus/COVID- 19) ne bafa bwe guyisizza omuwendo gw’abo gwe kasse e China gye kaasooka era ng’omugatte awamu era gusinga abalina akawuka kano okwetoloola ensi yonna.

Gendako 703x422

Omusawo ng’atadde omu ku balwadde ku byumu mu ddwaaliro e Bergamo. Wansi keesi z’abafu mu ddwaaliro eryo.

Embeera olutuuse wano, kati magye ge gaayingiziddwaawo era ebimotoka by’ago bye bisomba emirambo okuva mu malwaliro naddala mu kitundu ky’essaza Lombardy okutwalibwa mu limbo endala mu bitundu ebirala okuva ezibadde ziziikibwamu okufunda.

Newankubadde nga biri bwe bityo, wakyaliwo essuubi era Paapa akulembera Mmisa buli kiseera okusaba Katonda avvuunuse ensi eno ekirwadde kino ekikambwe nga n’abasawo bwe batakula emitwe okuzuula eddagala.

Ebyembi n’abasawo abakugu 5 we bwazibidde eggulo nga nabo bafudde ne baweza omugatte gw’abajanjabi abaakafa 13.

Wabula wadde biri bityo, abasawo baagambye nti weebali era beetegefu okukola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu wadde bakizudde nga newankubadde omuwendo gw’ebitanda si muotono, abajjanjabi be batamala.

Omukutu gwa Sky News gwafulumizza ebifaananyi ng’olaba abasawo bavuga obugaali obuliko abalwadde mu nkuubo z’ebitanda mu ddwaaliro erikubyeko nga tebalina we babateeka kyokka nga ne be batadde ku byuma ebibayamba okussa bayaayaana abasinga nga bakutte ku bifuba okulaga nti tebakyalina mukka gubamala era abamu wano we baatondokedde.

Omukugu mu kukola ku balwadde be bateeka mu kasenge awali abayi ennyo Dr Lorenzo Grazioli mu ddwaaliro lya Paapa Giovanni XXII, yagambye nti ekiseera ky’amaze ng’ajjanjaba abayi ennyo mu busenge buno tabeerangako awo n’awulira ng’asobeddwa kubanga abadde abeera n’eddagala ly’abawa ne bawona.

“Omulundi guno binsobedde kubanga tuliwo abakugu 100 naye baleeta omulwadde ne mumuteeka ku byuma n’omutunuulira nga ky’osobola okumuwa gwe mukka asse tewali kirala,” Dr Lorenzo bwe yannyonnyodde.

Omuwendo gw’abalwadde gulinnya e Yitale buli olukya okusinga mu bitundu ebirala byonna eby’ensi.

Ku Lwokusatu lwokka baalangirira abantu 475 abaafa mu ssaawa 24 zokka.

Waddde embeera eri bweti, ku ntandikwa y’omwezi Gavumenti yasalawo abantu bonna obutava mu maka gaabwe era ng’omuntu okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala kimwetaaza lukusa lutongole okuva ku poliisi ate ng’ekikutambuza kya nsonga nnyo okugeza okugenda okugula ebyokulya n’okufuna eddagala mu maduuka agalitunda.

Ekiri mu mawanga ag'enjawulo

South Africa: Yafulumizza ebiragiro ebikambwe ku basaasaanya amawulire ag’obulimba ku Coronavirus. Bakusiba emyezi mukaaga, okuwa engassi oba okukola ebibonerezo byombi.

l Amerika: Pulezidenti Donald Trump addirizza obukwakkulizo bw’abali mu kunoonyereza ku ddagala eriyinza okuwonya, abakkirizza okukola mu bwangu nti basobola n’okubuuka emitendera egimu egibalwisa basobola okuzuula amangu eddagala eriwonya ekirwadde kino. Abantu obukadde 40 e California babalagidde basigale waka. Mu ngeri y’emu Dr. Anthony Fauci akulira US National Institute of Allergy and Infectious Diseases alabudde abavubuka nti bakomye okweyibaala balina okutwala ekirwadde kino nga kibi ekisobola okutta buli muntu.

l China: Eggulo yategeezezza nti teyabaddeyo na balwadde bapya be yazudde era n’abo 39 be yafunye baavudde mu mawanga amalala ne babazuulira e China. Luno lwabadde lunaku Lwakubiri nga China tefunyeeyo bannansi bapya abakwatiddwa.

l Buyindi: Katikkiro wa Buyindi Narendra Modi, yalagidde abakadde abasussa emyaka 80 okusigala nga beggalidde mu mayumba. Yabakuutidde okwewala olugambo n’amawulire agatakakasiddwa.

l Bungereza: Eyise abasawo abaawummula 65,000 bakomewo ku mirimu bayambeko. Wabula eno, omuwala ow’emyaka 39 eyakwatiddwa ssennyiga ono alabudde abavubuka banne obutasaagira mu kulabula kubaweebwa era teyandyagadde bayite mu ky’aliko kati kubanga n’abavubuka kabakwatira ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi