TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Poliisi gye yasuze egobagana n'abamabaala e Nansana lwa Coronavirus

Engeri Poliisi gye yasuze egobagana n'abamabaala e Nansana lwa Coronavirus

By peter ssaava

Added 24th March 2020

POLIISI ye Kyebando mu Nansana ku Mmande ekiro yakoze ekikwekweto ku mabaala agaajeemedde ebiragiro bya Pulezdenti Museveni okukkakkana ng’abasoba mu 20 bebakwatiddwa.

Ssaavanansanakikwekweto1 703x422

Ekikwekweto kyaayindidde mu bitundu bya Kyebando ne Nsumbi nga kyaakulembeddwamu atwala poliisi ye Kyebando Edison Obukulem ng’ayambibwako abaserikale abalala.

Baasokedde ku mabaala ag’enjawulo mu kitundu kya Kazinga era ng’eno baasanze bangi bali mu kunywa nga bwebakuba omuziki era abawerako nebakwatibwa. Beyongeddeyo mu Nsumbi ne basanga amabaala amalala nga gali mu kukola era abagakulira ne batekebwa ku mpingu ne batwalibwa ku poliisi e Kyebando.

Ku bbaala ya Posh e Kyebando, abadigize baabadde babasibidde munda nga bwewabaawo azze bamuyisa mmanju mu kaggi akatono neyegatta kubanywa. Poliisi yatemezeddwako era nerumba ekifo kino wabula yasanze akaseera akazibu okuyingira kuba banannyini bbaala baabadde basibyewo buli wamu.

Oluvannyuma poliisi yasinzizza abadigize amaanyi neyingira munda era ng’eno yakutte bannanyini bbaala eno ate abadigize abasoba mu 50 ne bemulula ne badduka. Ebikwekweto byaakomekkerezeddwa ku kabaala ka Rose Bar e Kyebando ku ssaawa 6:00 ez’ekiro gyebaakwatidde abawerako nga bano baasangiddwa nga bali mu kunywa mwenge.

Poliisi yabadde emaliriza ekikwekweto kwekugwa ku mmotoka eyabaddemu omuvubuka n’omukazi omulala eyategerekse nga Hajat nga bali mu kunywa mwenge era nebano baatwaliddwa ku poliisi e Kyebando.

Atwala poliisi ye kyebando Edison Obukulem yategezezza nti abatuuze baabatemezaako nti waliwo amabaala agali mu kukola era nabo ne basitukiramu okukola ekikweweto. Yagambye nti bagenda kukola ebikwekweto bino mu Nansana yonna okulaba nga bafuuza abo abajemera ebiragiro bya Pulezidenti

Yagambye nti abaakwatiddwa bagenda kwongerwayo ku poliisi e Nansana ng’eno gyebajja okujjibwa batwalibwe mu kkooti bavunanibwe omusango gw’okujemera omukulembeze w’eggwanga.

alt=''

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana