TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akulira abakozi e Kayunga aggaddewo ofiisi z'ekitebe lwa Coronavirus

Akulira abakozi e Kayunga aggaddewo ofiisi z'ekitebe lwa Coronavirus

By Saul Wokulira

Added 24th March 2020

Ab'e Kayunga basattira olw'ekirwadde kya COVID-19 ekikakasiddwa mu disitulikiti.

Gula 703x422

Akulira abakozi e Kayunga Hamphrey Benson Otim ayise olukiiko lw'abakozi enkya ya leero n'agamba nti bagenda kuggalawo ekitebe kya disitulikiti basigazeewo abakozi abo bokka abatono abeetaagisa.

Otim agamba nti abalwadde tebanabajjayo e Bbaale gyebazuuliddwa kubanga bakyalinda bakulu okuva mu minisitule y'ebyobulamu.

Bano batuuze b'e Kayunga wabula obulwadde we bucaakidde nga bali Rwanda gyebaagenda okuziika. Bano ba famile emu era Bali mwenda.

RDC Maragaret Kikomeko Mwanamoiza agambye nti waliwo abantu abalala munaana bebatadde mu kalantiini mu bitundu okuli Busaana, Nazigo, Baale, Kayunga Town council ne Galiraaya nga nabo bateeberezebwa okuba n'obulwadde.

Akulira ebyobulamu e Kayunga Dr. Ahmed Matovu agambye nti bataddewo "rapid response team" okwang'anga buli webawulidde obulwadde buno.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...