TOP

‘Emisango egimu gyakuloopebwa ku ssimu’

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2020

POLIISI erambuludde enteekateeka gy’ereese okulwanyisa obuzzi bw’emisango mu kiseera kino ng’ekirwadde kya ssennyiga omukambwe (Coronavirus) kisattiza Bannayuganda.

Yes3 703x422

Eraze emisango emitonotono egisobola okukolwako ng’abavunaana tebatuuse ku poliisi n’emisango eminene avunaanibwa mw’alina okukwatibwa n’atwalibwa ku poliisi.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti okuleeta enkola ey’okukuba essimu okusobola okuloopa emisango egendereddwa kukendeeza ku mujjuzo ku poliisi n’okutangira ekirwadde kya ssennyiga omukabwe okusaasaanira ku poliisi.

“Twasazeewo buli muntu alina omusango omutono akube ku poliisi essimu abaserikale basobole okuguwandiika mu kitabo era nga kino tukikoze okwekuuma embeera eyaguddewo mu nsi olw’ekirwadde kya ssennyiga omukabwe,” Enanga bwe yategeezezza.

Yagambye nti emisango emitono omuli; okulwana omuntu n’atafuna bisago, okusammuliza omuntu amazzi, okuvuma n’okusooza, okukwata mmotoka n’eweebwa lisiiti nga gino tekyetaagisa kukwatirako muntu wabula nga eyeemulugunya alina okukubira poliisi essimu omusango gwe ne guwandiikibwa mu kitabo.

Yategeezezza nti buli poliisi yonna mu ggwanga erina essimu ey’obwereere eyateekebwawo abantu kwe basobola okugikubira ne bagitegeeza ensonga era ng’abaserikale abazikwata babangulwa ku ngeri y’okuzikwatamu era nga basobola okumanya obuzito bw’omusango omuntu gw’aloopa.

Yagambye nti enkola y’okukuba ssimu tekola ku misango gya nnaggomola nga; ettemu, okusobya ku mukazi, okubbisa emmundu, obubenje n’emirala nga gino omuntu alina okutuukirira poliisi n’agitegeeza abaserikale ne basobola okusitukiramu.

Yannyonnyodde nti abakulira okuduumira poliisi ez’enjawulo mu ggwanga balagiddwa okuteeka enteekateeka eno munkola kuba kino kyagendereddwaamu okwekuuma n’okumalawo omugotteko ku poliisi n’okukendeeza omujjuzo mu buduukulu.

Yagambye nti abaserikale balina okusengejja n’okusunsula mu misango gyonna gye babaloopera kubanga tegyenkana nga n’egimu poliisi si y’egivunaanyizibwako nga balina okuwabula abantu okugenda we balina okugenda nga okutandikira ku LC kasita omusango tegubeera gwa nnaggomola.

Yagasseeko nti era abaduumira n’okukulira poliisi ez’enjawulo mu ggwanga balagiddwa okufuba okulaba nga bakuuma obuyonjo n’okuteekawo amazzi abantu abagendayo ge banaaba mu ngalo.

Akulira ekitongole kya poliisi ekitabaganya n’omuntu waabulijjo Asan Kasingye yagambye nti, eno y’emu ku nkola poliisi mwesobola okuwuliziganya n’abantu n’esobola okufuna amawulire omuli ag’ekikessi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mat14 220x290

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi...

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi Vicent Nyanzi adduukiridde ebitongole bya Gavument

Mus13 220x290

Abadde asomesa abaana mu nkukutu...

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Bel1 220x290

Bella, ono ye taata bulamu?

Bella, ono ye taata bulamu?

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza