TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Wuuno woyiro w’obutonde anaakuyamba okwetangira ssennyiga omukambwe

Wuuno woyiro w’obutonde anaakuyamba okwetangira ssennyiga omukambwe

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2020

Wuuno woyiro w’obutonde anaakuyamba okwetangira ssennyiga omukambwe

Cup1 703x422

Sanitizer’ eyakoleddwa aba Prof Bioresearch okuyambako mu kuziyiza ssennyiga omukambwe.

ssennyiga omukambwe (Coronavirus) akutte wansi ne waggulu era abantu bangi bali ku bunkenke n’entambula ekalubye ate nga batidde n’ebyenfuna okugootaana. Mu Uganda ebivvulu n’ebbaala byonna byawerwa kyokka naawe atunda emmere oba engoye teweeyibaala wadde tezinnawerwa naye abazigula ate bye batunda okufuna ssente byawereddwa.

Eno si y’enjega esoose okugwa mu nsi kubanga wazze wabalukawo obulwadde obw’enjawulo okuli ssennyiga w’ebinyonyi, Mers, Sars n’ebirala. Naye obulwadde obukyasinze okuba obw’omutawaana ye kawumpuli.

Ono yatta Abazungu abasoba mu bukadde 200 era ne wano mu Uganda yatuuka. Newankubadde yatta abantu bangi mu Uganda, naye asinga okujjukirwa ye mukyala wa Musa Kasule e Wandegeya.

Ono oluvannyuma lwa kawumpuli okutta mukazi we, Abasiraamu ne bamuziikirako yakyuka n’asiramuka era n’abawa ettaka kwe baazimba omuzikiti gw’e Wandegeya.

Atamanyi hajji Kasule ye jjajja wa Mujib Kasule nnannyini ttiimu y’omupiira eya Proline. Naye waliwo ababbi basatu abanyagululanga abafudde kawumpuli ate nga tabakwata.

Oluvannyuma ababbi bano baakwatibwa ne boogera woyiro gwe bagatta ne basobola okunyaga emirambo egy’abafudde kawumpuli kyokka bo nga tabakwata. Baagamba nti, baagatta woyiro w’ekikuta ky’enniimu, emicungwa, Rosemary, akakomera nga bye beesiiga ne banyaga emirambo.

Naffe twakoze okunoonyereza ne tukola ‘sanitizer’ okuva mu woyiro oyo waggulu era wa butonde ng’atta obuwuka ssinga omwesiiga mu ngalo. Onotumufumba nga emmandule naye omwenge mulimu ogw’obutonde era n’abatagunywa basobola okumukozesa.

Ekirungi ekirala ekimuliko agula 5,000/- n’okudda waggulu, osobola okugulirako abantu mu kyalo. Mu kulwanyisa ssennyiga omukambwe, Abachina baakozesezza eddagala ezzungu n’ery’obutonde era balina we batuuse.

Ate era jjukira nti, ekitongole kya Centers for Disease Control mu Amerika nakyo kyakakasa woyiro ono nti, Wuuno woyiro w’obutonde anaakuyamba okwetangira ssennyiga omukambwe ‘Sanitizer’ eyakoleddwa aba Prof Bioresearch okuyambako mu kuziyiza ssennyiga omukambwe. atta obuwuka. Omukenkufu asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mat14 220x290

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi...

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi Vicent Nyanzi adduukiridde ebitongole bya Gavument

Mus13 220x290

Abadde asomesa abaana mu nkukutu...

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Bel1 220x290

Bella, ono ye taata bulamu?

Bella, ono ye taata bulamu?

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza