TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri gye baazingizza omuyimbi Spice Diana ne bamukebera Coronavirus

Engeri gye baazingizza omuyimbi Spice Diana ne bamukebera Coronavirus

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2020

ABASAWO bazingizza omuyimbi Spice Diana abadde yaakava e Tanzania ne bamuggyako omusaayi ne bamukebera ekirwadde kya ssennyiga omukambwe (coronavirus).

Kolango 703x422

Ekifaananyi Spice Diana kye yeekubisa nga yaakatuuka e Bungereza

Spice Diana abadde atambula obutawummula era abadde yaakava e Dubai nga March 8, 2020 gye yabadde n’ekivvulu ne banne okuli mukyala w’omuyimbi Daxx Kartel amanyiddwa nga Momo 19 n’abalala okuli munnamawulire Precious Remmy.

Bano abalala tebanneewaayo mu ba byabulamu okukeberebwa. Okusinzira ku Roger Lubega, maneja wa Spice Diana, abasawo bazze awaka ne bakebera omuyimbi ono wabula tebannazza byavuddemu.

Omucakaze era omwejaasi Judith Heard naye yabadde Tanzania, era ono mu lugendo lwe yabadde n’omuyimbi [Rapper] ow’e Tanzania amanyiddwa nga Mwana FA, ng’amannya ge amatuufu ye Khamis Mwinjuma, eyakebeddwa n’asangibwa n’akawuka ka coronavirus.

Omuyimbi Bebe Cool olwategedde bino yayogedde ne Judith Heard n’amugamba agende bamukebere balabe oba alina ekirwadde kya Corona, Judith Heard okuyita ku mukutu gwe ogwa Twitter yategeezezza nti, “Thanks @BebeCoolUG for reaching out to me, i just got off the phone with MinofHealthUG am about to get tested COVID19UG COVID19outbreak.

Mu ebyo Judith heard yabadde ategeeza nti abadde n’ab’ebyobulamu era ne bakkaanya ku by’okumukebera.

Momo 19 yasabye ebigambo bibeere bitono kubanga yamaze dda okwekebeza ne minisitule y’ebyobulamu era ebizuuliddwa bwe binaakomawo ajja kubiraga abantu bonna.

Bassereebu abalala abaagenda ebweru w’eggwanga kuliko; Ray P, Roger Lubega nga naye yakebeddwa ne Prima Kadarshi mukyala w’omuyimbi Geo Steady.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...