TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasawo mu malwaliro g'e Kayunga tebakoze abalwadde ne bakonkomala

Abasawo mu malwaliro g'e Kayunga tebakoze abalwadde ne bakonkomala

By Saul Wokulira

Added 26th March 2020

ABASAWO mu malwaliro g'e Kayunga tebakoze me baleka abalwadde nga bakonkomalidde ku malwaliro oluvanyuma lw'ekiragiro kya pulezidenti okuwera entambula ey'olukale.

Konko2 703x422

Ku ddwaliro lya gavumenti erya Ntenjeru health center IV abakyala ab'embuto ababadde bazze okunywa eddagala, Bannakawere n'abeebirwadde ebirala bonna abalwadde babagobye baddeyo ewaka.

Ne Bannakawere abaazadde ekiro nakedde kugobwa ku malwaliro ne batambuza bigere okudda eka.

 

Akulira ebyobulamu e Kayunga Dr. Ahmed Matovu agambye nti abadawo abasinga obungi tebasula ku malwaliro kubanga tewali mayumba g'abasawo era bakozesa ntambula ey'olukale.

Ku ddwaliro e Ntenjeru gye tusanze abasawo babiri okubadde Mariam Nabbaale ne munne batugambye nti waliwo abantu abakolola be babaleetera kyokka tebayinza kubatuukirira kubanga tebalina bikozesebwa.

Akulira abakozi e Kayunga Benson Otim agambye nti abantu abateeberezebwa okuba n'abalwadde e Kayunga kati babakung'anyiriza ku ssomero lya Namagabi SS.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...