TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba LDU bakubye mutabani wa Gen. Gutti n’abalala 2 amasasi

Aba LDU bakubye mutabani wa Gen. Gutti n’abalala 2 amasasi

By Joseph Makumbi

Added 26th March 2020

Aba LDU bakubye mutabani wa Gen. Gutti n’abalala 2 amasasi

ABA LDU bakubye abateeberezebwa okubeera ababbi babiri amasasi mu Kampala ne batwaliramu ne mutabani wa Lt. Gen. Andrew Gutti, ssentebe wa kkooti y’amagye. Ababbi be baakubye mu Kampala, omu baamukubidde Kawempe ate omulala Kololo mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri.

Ow’e Kawempe, ye Simon Sserwadda ate gwe baakubidde e Kololo, abadde tannategeerekeka mannya. Omwogezi w’ekibinja kya UPDF ekisooka, Maj. Biral Katamba yagambye nti ku ssaawa 9:00 ez’ekiro, omuzigu eyabadde n’ebisumuluzo yalumbye amaka ga polofeesa Vincent Ssembatya n’ayingira kyokka abakkamera ne bamulaba.

Yagambye nti, abeebyokwerinda baayanguye ng’akyali munda kyokka n’alumba omu ku baserikale ng’ayagala kumutema kwe kumukuba amasasi agaamuttiddewo.

Yagasseeko nti, omulala Yagaseeko nti, omulala gwe basse, yayingiridde omutuuze ng’ali n’ekibinja ky’ababbi abalala ne babba ebintu era mu kikwekweto kye baakoze, omu kwe kumukuba amasasi mu bitundu by’e Kawempe.

MUTABANI WA GUTTI Jonathan Lomelo 25, mutabani wa Lt. Gen. Gutti, yasangiddwa mu kaduukulu ka poliisi ng’afudde oluvannyuma lw’okutulugunyizibwa aba LDU mu disitulikiti y’e Napak.

Lomelo, y’omu ku bajaasi ba LDU 3,000 abaatwalibwa ku ttendekero ly’amagye mu Olilim okutendekebwa. Okumutulugunya, kyaddiridde Lomelo okukuba akulira etterekero ly’ebyokulwanyisa ebyasi n’adduka aba LDU ne bamukwata.

Ensonga eyavuddeko Lomelo okukuba omukuumi ebyasi tennamanyika kyokka abamu ku baalabye ebyabaddewo baategeezezza nti, baalabye aba LDU nga bagoba Lomelo n’oluvannyuma ne bamulagira awanike emikono kyokka ne batandika okumukuba.

Oluvannyuma, baamukwasizza Brig. Joseph Balikuddembe aduumira ekibinja kya UPDF ekyokusatu yagambye nti, aba LDU bataano okuli n’omuduumizi waabwe baakwatiddwa. Kyokka era yanenyezza ne Lomelo wadde yafudde okukuba munne amasasi ate n’agezaako okutoloka adduke. Akakiiko k’eddembe ly’obuntu kalabudde abeebyokwerinda abadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’