TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddwaliro ly’e Mukono lyakasindika 13 e Mulago abateeberezebwaokuba ne Coronavirus

Eddwaliro ly’e Mukono lyakasindika 13 e Mulago abateeberezebwaokuba ne Coronavirus

By Henry Nsubuga

Added 27th March 2020

Eddwaaliro ly’e Mukono lyakasindika 13 e Mulago abateeberezebwa okuba n’ekirwadde kya COVID 19

Kola 703x422

Abantu 13 be baasindikibwa mu ddwaliro e Mulago okuva e Mukono nga basangiddwa n’obubonero obulabika okuba obw’ekirwadde kya COVID 19.

Akulira eby’obulamu mu munisipaali y’e Mukono, Dr. Anthony Kkonde  yagambye nti abamu ku bano beereesenga bokka mu ddwaliro ate ng’abalala abantu baayise abasawo nga babakaayidde baagala na kubakuba oluvannyuma lw’okukizuula nti baaliko mu mawanga g’ebweru okuli ne Dubai mu bbanga eritasukka wiki bbiri.

Dr. Kkonde yasangiddwa mu ofiisi ye ku kitebe kya munisipaali y’e Mukono oluvannyuma lw’omusasi waffe okulambula eddwaliro lya Mukono Municipality hospital n’asanga ng’omujjuzo gw’abalwadde guli waggulu wadde ng’eggwanga liri mu bwerinde bw’ekirwadde kya COVID 19 ekifuuse ki kazaalabulwa mu nsi yonna.

Yagambye nti abantu buli muntu gwe bamanyi nti yagendako e Dubai mu bbanga eritali lye wala kati babawenja nga mpiso nga baagala babaveemu si kulwa nga babasiiga ekirwadde kya coronavirus.

Wabula yasabye abantu okwewala okutwalira amateeka mu ngalo ne bwe baba baliko gwe bateeberezza okubeera n’ekirwadde kino kuba nti bwe kiba nga ddala mulwadde ate bangi ababa bayinza okusiigibwa mu kavuvungano ak’ekika kino.

“Nsaba oyo gwe baba bateeberezza batukubire wano ffe tulabe bwe tukola enteekateeka okumunona oba bakube ennamba z’essimu eza minisitule y’eby’obulamu ezizze giweebwa abantu okuyita ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo,” bwe yannyonnyodde.

Kkonde yagambye nti abantu bangi ababayitiddwa ne babatwala ku ddwaliro ne babeekebejja ne basangibwa nga tebalina kirwadde ng’abantu bwe baba bateeberezza.

Yagasseeko nti ku Lwokuna ku makya, abantu basatu be baasindikiddwa mu ddwaliro e Mulago wadde ng’okuva ku Mmande tebafunanga biva mu kukeberebwa okw’abo be bazze basindikayo okwekebejjebwa okubategeeza oba ddala balwadde oba nedda.  

Yategeezezza nti bbo abalwadde beeyongera okweyiwa mu ddwaliro lino okufuna obujjanjabi obwabulijjo nga bafuba okulaba nga bateekawo embeera ebakuuma obutafuna bulwadde gamba ng’okunaaba mu ngalo nga bayingira n’okulaba nga tebeenyigiriza nnyo nga bali mu ddwaliro.

Yagambye nti n’abasawo babawadde ebyo ebibayamba okwewala ekirwadde kino omuli giraavuzi, bu masiki obuteekebwa ku nnyindo n’emimwa ne sanitizer.

Wabula yasuubizza nti ku Lwokuna minisitule y’eby’obulamu yabadde eriko ebyeyambisibwa mu kukebera coronavirus bye yabadde ebasuubizza okubaweereza omuli n’ebyuma ebitunuzibwa mu muntu ku mutwe ne bisoma ebbugumu ly’omubiri nga bino bibadde tebiriiwo.

Era yagambye nti nga bali n’abakulu ku disitulikiti baatudde mu lukiiko ne batema empenda okulaba oba ng’e Mukono basobola okufunayo ekifo abo abateeberezebwa okubwa n’ekirwadde kino mwe bayinza okukuumibwa nga mu ddwaliro e Mulago oba Entebe batwalayo abo bokka ababa bamaze okulagira ddala nga babulina olwo kikendeeze ku mujjuzo mu mwalwaliro ago agafuna abalwwadde n’abateeberezebwa okuva mu ggwanga lyonna.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....