TOP

Paapa awadde ensi yonna essuubi

By Musasi wa Bukedde

Added 27th March 2020

PAAPA Francis awadde abantu obubaka mu nsi yonna wakati mu kulwanyisa ssennyiga omukambwe (coronavirus) n’alangirira okukulembera Mmisa ey’enjawulo n’okuwa ensi yonna omukisa.

602220b1a08a4c78a2261ab1119a500a18 703x422

Paapa Francis

Paapa agenda kukulembera Mmisa mu St. Peter’s Basilica n’oluvannyuma awe abantu b’omu Roma n’ensi yonna omukisa mu nkola mu Lulatini gye bayita ‘Urbi et Orbi’ ekitegeeza mu kibuga n’ensi yonna.

Yategeezezza nti kano akadde si kakukankana ng’abantu bafa coronavirus wabula okunywera okusabira embeera etereere n’abalwadde okussuuka.

Paapa kino ye yasoose okukikola n’afuluma Vatican n’agenda mu kibuga Roma ekyaggalwawo nga tewali muntu akkirizibwa kutambula n’asabira abalwadde.

Paapa yasoose kusisinkana bannaddiini banne ab’enzikiriza ez’enjawulo okuli ow’enzikiriza y’Abasodokisi n’eyabakristaayo ne basoma essaala ya Kitaffe ali mu ggulu okwegayirira Katonda aggyewo ssennyiga omukambwe.

Yasazeewo nti Mmisa gy’agenda okusoma yaakuyamba abalwadde basobole okussuuka n’okutangira Ssennyiga okusaasaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono