TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Coronavirus: Amerika ewadde bannansi baayo bamufunampola buli omu 4,500,000/= bagira bakozesaako

Coronavirus: Amerika ewadde bannansi baayo bamufunampola buli omu 4,500,000/= bagira bakozesaako

By Musasi wa Bukedde

Added 27th March 2020

AMERIKA ewadde bannansi baayo bamufunampola buli omu ddoola 1,200/-, ze ssente eza Uganda obukadde 4 n’ekitundu bagira bakozesaako mu kiseera kino eky’okuluma obujiji ekya ssennyiga omukambwe.

1175942533jpg0 703x422

Donald Trump ng'ayogera eri abaamawulire

Ekirwadde kyakatta bannansi b’eggwanga eryo abasoba mu 1,000 ne kivaako embeera ey’abantu abasoba mu bukadde 75 obutaseguka mu maka gaabwe nga beewala okukwatibwa.

Ssenyiga ono ayitibwa COVID 19 akyeyongera okusaasaana kyokka oluyiira teruli mu Amerika mwokka wabula n’ensi yonna nga kati atuuse mu mawanga 198 era yaakakwata abantu abakunukkiriza mu mitwalo 50 ate ng’abaakafa kati bayingidde mu 22,000.

 

AMERIKA EYISIZZA BBIRIYONI 7,600,000 OKUVUBIRIZA CORONA.

Palamenti ya Amerika eyisizza ensimbi ez’okudduukirira n’okuyamba abantu mu biseera ebyakazigizigi.

Ensimbi zino ze zikyasinze okubeera ennyingi mu byafaayo by’eggwanga eryo nga zigenda kuyamba Bannansi ku mitendera egy’enjawulo okuviira ddala ku bamufunampola okutuuka ku makolero ne bizinensi ennene.

Ssente zino ziri bbiriyooni za ddoola 2,000 nga mu za Uganda ze bbiriyooni 7,600,000. Kuliko ez’okuwa bamufunampola abatudde awaka, era buli muntu asula yekka waakufuna ddoola 1,200 mu za Uganda obukadde 4 n’ekitundu ate abafumbo bafune ddoola 2,400( mu za Uganda obukadde 9).

Buli mwana agenda kuweebwa ddoola 500( ke kakadde 1 n’emitwalo 90 eza Uganda).

Wabula, ssente zino zaakuweeba omuntu afuna omusaala ogutasukka ddoola 75,000 (obukadde 285) omwaka oba abafumbo abayingiza ensimbi ezikka wansi wa ddoola 15,000 (obukadde 570 eza Uganda) omwaka.

Ng’oggyeeko okuyamba ffamire, ensimbi eziyisiddwa Palamenti ya Amerika zigenda kukozeseba mu kuzimba amalwaliro amanene amapya 4, okugassaamu buli ekyetaagisa mu kujjanjaba n’okugula ebikozesebwa mu masaza ga Amerika.

Ensimbi endala zaakuyamba abaamakolero ne kkampuni omuli ez’ebyentambula nga ez’ennyonnyi eziggaddewo ne ziwummuza n’abakozi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono