TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Coronavirus: Kenyatta asaze omusolo okuyamba Bannakenya

Coronavirus: Kenyatta asaze omusolo okuyamba Bannakenya

By Musasi wa Bukedde

Added 27th March 2020

Pulezidenti wa Kenya, Uhuru Kenyatta alangiridde nga bw’asaze emisolo mu kaweefube w’okuyamba Bannakenya mu mbeera y’obulwadde bwa COVID 19.

Uhurukenyatta 703x422

Kenyatta

 
 
Kenyatta yalagidde abakuhhaanya emisolo obutaggya musolo gwonna ku makolero n’abantu ssekinnoomu abakozesa ssente eziwera Shs. 24,000 eza Kenya, mu za Uganda 880,278/-
 
Ekiragiro kitegeeza nti ab’obukolero obutono, abaamaduuka n’abantu abalala bakozesa ssente eziri mu kigeri ekyo.
Ekiragiro kino kyakutandika okussibwa mu nkola omwezi ogujja era Palamenti y’esigadde okukiteesaako.
 
Kuno Kenyatta agasseeko okukendeeza omusolo ku misaala gy’abantu (PAYE) ogusinga okusasulwa abakozi b’ebitongole n’abantu abalala abalina emirimu emitongole okuva ku bitundu 30 ku 100 okutuuka ku 25 ku 100.

Omusolo bannansi gwe basasula nagwo yagukendeezezza okuva ku bitundu 30 okutuuka ku bitundu 25 ku 100.

Omusolo ku bintu ebikolebwa nagwo gwakendedde okuva ku bitundu 3 ku 100 okudda ku kitundu 1 ku 100.

Omusolo gwa VAT gukendeezeddwa okuva ku bitundu 16 ku 100 okudda ku bitundu 14 ku 100.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono