TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

By Musasi wa Bukedde

Added 28th March 2020

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Sam13 703x422

Ambulance eweereddwayo Minisita Sam Kuteesa

Bya Maria Nakyeyune
 
Ng'ensi yonna eri mu bwerinde okulwanyisa ekirwadde ekya COVID 19 ekireetebwa akawuka ka Corona Virus, Gavumenti ya Buyindi ng'eyita mu Minisita w'ensonga z'ebweru era Omubaka wa Mawogola North Sam Kuteesa etuusizza Ambulance okuyambako okutuusa abalwadde n'abateeberezebwa mu malwaliro.

Eno etuukidde mu kiseera ng'abantu balaajana olw'entambula ng'abalwadde tebalina webayita kutuuka ku malwaliro olw'ekiragiro kya Pulezidenti okuyimiriza entambula ez'olukale ng'abalina emmotoka ez'obwanannyini baawanise ebisale byentambula.

Eno ekwasiddwa Ssentebe wa Disitulikiti eno Dr Elly Muhummuza ku kitebe kya Disitulikiti nga Minisita Kuteesa akiikiriddwa muwala we Shartis Musherure ng'ono ategeezezza nti egenda kuyambako abantu naddala mu masoso g'ebyalo mu kaweefube wokulwanyisa akawuka ka Corona virus n'abasaba bajeyambise bulungi.

Kuno agasseeko n'emmotoka etambuza amazzi eyambeko abatuuze naddala mu kadde kano akokwewala omujjuzo gw'abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono