TOP

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

By Musasi wa Bukedde

Added 28th March 2020

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Kab18 703x422

Katikkiro Mayiga

KABAKA ayimirizza abakozi b’e Mmengo ne babalagira okudda eka okutuusa nga April 14, 2020.

Baalagiddwa okusigala nga batambulira ku biragiro by’okwekuuma obulwadde bwa ssennyiga omukambwe (coronavirus) asannyalazza ensi yonna. Bino byalangiriddwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ku Lwokuna akawungeezi n’agamba nti Obwakabaka bwetaaga abantu bonna nga balamu. “Abakozi bonna tugenda kubasindika mu luwummula.

Tugenda kuggalawo Gavumenti ya Kabaka okuva leero okutuuka April 14, 2020. Era tujja kusinziira ku biragiro Gavumenti eya wakati by’eneebeera ewadde naddala ebikwata ku ntambula y’olukale,” Mayiga bwe yategeezezza.

Yayongedde n’ategeeza nga ku lunaku olwo ( olwa April 14, 2020) bwe bagenda okusooka okuzza abakozi abatonotono, abalina obuvunaanyizibwa obuteewalika ate abalala basigale awaka okutuusa nga April 20, 2020, oluvannyuma lw’ennaku 32

. “Abakozi baffe abanadda nga April 14, 2020 ofiisi ya Katikkiro ng’eyita mu muwandiisi ow’enkalakkalira mu ofiisi ye ajja kubamanyisa ng’eyita ku mutimbagano.Nange ndi wakwogerako eri abakozi bonna ku mutimbagano. Omanyi tekinologiya ekyo kye kirungi kye.

Tetwagala kuteeka bantu bangi mu kifo kimu okwogera nabo,” Katikkiro Mayiga bwe yagasseeko.

Mayiga eyabadde ne Minisita w’amawulire era omwogezi w’Obwakabaka Noah Kiyimba, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma n’omuwandiisi ow’enkalakkalira mu ofiisi ya Katikkiro wa Buganda, Josephine Nantege Ssemanda yategeezezza nga bwe baalagidde abakulira ebitongole by’Obwakabaka 17 okutetenkanya n’okusala amagezi aganaabasobozesa okuyita mu mbeera eno, emirimu gitambule nga n’abakozi basigadde balamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono