TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera biragiro bya Museveni eby'okuggala amasinzizo gonna

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera biragiro bya Museveni eby'okuggala amasinzizo gonna

By Paddy Bukenya

Added 29th March 2020

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi ng'awanyisiganya ebigamobo ne OC amukutte.

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 703x422

Poliisi y'e Mpigi ekulembeddwamu agikulira Elias Twesigye esazeeko Klezia ya St Joseph Catholic Church e Mpigi n'ekwata bwanamukulu w'ekigo kino Fr. Deogratius Kiibi Kateregga lwa.kusomera mmisa mu Klezia ekikontana n'ekiragiro kya Pulezidenti. 

Poliisi okusalako Klezia eno kiddiridde okufuna amawulire nti mmisa egenda mu maaso era basanze Abakristu abatono abagibaddemu basembera kyokka bw'ebakonkonye ne bagaana okubaggulira olwo ne beebulungula ekigo kyonna. 

Wano omu ku bakristu Susan Namazzi era nga yekansala wekitundu kino avudde mu mmisa neyegayirira OC Twesigye asonyiwe faaza kyokka bweyeremye nga amugamba okuggulawo namusaba amulinde amalirize mmisa nga amateeka ge diini bwegalagira olwo nebagumba ebweru ku nziggi zonna. 

Nga mmisa ewedde Faaza Kiibi egenze ku geeti yekigo ewabadde abasirikale ne OC we Mpigi (Elias Twesigye) natandika okumubuuza ebibuuzo ebyokumukumu era nagaana abadde ku luggi okumuggulira. 

Basoose kuwanyisiganya bigambo nga Faaza Kiibi atisatiisa okukubira omuduumizi wa poliisi ow'oku ntikko era n'alabula poliisi okukomya okuyingiriranga ebifo bya Katonda kyokka oluvannyuma agonze n'aggulawo era OC oluyingidde n'amukwata kyokka nga bw'akuba essimu ez'okumukumu. 

Faaza Kiibi asoose kwewozaako nti Klezia ebadde nziggale okwewala abakrisitu abangi okwetaba mu mmisa era nti ababaddemu bonna bantu b’amukigo.  Ayongeddeko nti abakristu ababiri abatali bamu kigo abetabye mu mmisa eno okuli Julius Ssengendo ne Barbra Nakiwala omu abadde asoma masomo omulala nga akwata mmisa ku Facebook live. 

Abakristu nga bakulembeddwamu Ssabakristu w'e Mpigi Seresitino Kaweesa bagenze ku poliisi okugezaako okweyimiriza Faaza Kiibi nga bagamba nti mmisa ebaddemu abantu batono nyo abatasukka bataano era ne bssaba poliisi okumusonyiwa. 

Faaza Kiibi nga atusiddwa ku poliisi akoze sitatimenti ku bibaddewo olwo nebamuyingiza mu offiisi ya OC mwatuuziddwa okulinda ekiddako. 

Akulira poliisi eno Elias Twesigye agambye nti Klezia n'amasinzizo gonna mu ggwanga byaggalwa ku kiragiro kya Pulezidenti Museveni okwewala okusasaanya ekirwadde kya COVID 19 era Faaza waakuggulwako omusango gw'okumenya etteeka lya Pulezidenti.

alt=''

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono