TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkampuni y'Abachina esenze ebirime by'omutuuze e Mpigi n'alaajanira UNRA

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime by'omutuuze e Mpigi n'alaajanira UNRA

By paddy Bukenya

Added 29th March 2020

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 703x422

 

Deo Mabike 48 omutuuze w'e Lungala mu Mpigi town Council yaguddewo ekigwo ebimotoka bi wetiiye bwebigudde ku lusuku lwe ne birime ebirala ne bisaanyizzaawo kyokka nga taliyiriddwa. 

Mabikke agamba nti abadde akedde mu nnimiro kunoonyeza baana be kyakulya kyokka kimuweddeko bwasenze nga ki tulakita kya kkampuni ya China Civil Engineering Construction Co. (CCECC) nga kisenze olusuku lwe lwonna nebirime ebirala okuli ebijanjaalo, muwogo n’emiti gy'ebibala ng'ate taliyirirwanga. 

Agamba nti abeekitongole ky'ebyenguudo ekya UNRA kyamutuukirirako emabega nga baagala okukozesa ekifo kino kyokka ne batamuliyirira nga bagamba nti waliwo omuntu omulala awakayanira era nti ensonga zikyali mu kooti wabula yewuunyizza nga basenze ebirime bye ebibalirirwamu obukadde 40. 

Ayongeddeko nti ssentebe w'ekyalo kino Joseph Ssengendo yabategeeza nti UNRA baabawa olukusa okulima ebirime ebitali bya banga ddene mu bifo bye babaliyirira era nti baakubawa ebbanga okubikungula kyokka yeewunyiza okulaba nga basanyizawo ebibye ng’ete biri mu kifo kyebatasasulanga. 

Abakungu ba kkampuni aya CCECC bategezezza nti omulimu ogwabaweebwa gwa kukola luguudo era ebyokuliyirira abatuuze bikwata ku kitongole kya UNRA kyokka ne bamusuubiza okumuutusiza okwemulugunyakwe eri bekikwatako.

Mabikke asabye abeekitongole kya UNRA bamuliyirire emmere ye gye boonoonye kubanga ali mu kaseera kazibu nga kati talina kyaliisa baanabe abali mu luwummula olukake olwembeera y’ekirwadde kya COVID 19.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono