TOP

Bella, ono ye taata bulamu?

By Musasi wa Bukedde

Added 30th March 2020

Bella, ono ye taata bulamu?

Bel1 703x422

OMUYIMBI Bella Ndagire eyeeyita Queen Bella bwe yakomawo ku kyeyo gye yali amaze ebbanga, yategeeza nga bw’anoonya omusajja anaamukolamu omulimu naye azaale bbebi n’okufuna omuntu amuyita maama.

Ng’ali ku muyiggo gw’omusajja, yakuba oluyimba olw’omukwano lwe yatuuma ‘Sukaali ggulu’. Mu luyimba luno agamba nti omukwano gwa ggaayi gwe yafunye gumutabula nga akantu kali ....ng’ogulimu ka lemon olw’engeri gye gubalagala kyokka ng’eno bwawulira obuwoomi munda muli era bw’aba tagufunye awulira bubi nnyo.

Bella yeewaana nga bwali ekimuli ate ggaayi we ye njuki. Ggaayi ono yamuwadde n’erinnya lya Papaaya....Sweet Papaya.

Kati wiiki ewedde Queen Bella yatadde vidiyo y’oluyimba luno Sukaali ggulu kyokka abagirabyeko buli omu ayogera bibye nga n’abamu bakkirizza nti omusajja gwali naye kirabika muninkini we ng’ate abalala bamubuuza nti vidiyo olwawedde kiki ekyazzeeko era baasibidde wa?

Queen Bella eyabadde yeesaze akagoye akaliko siriiti ekoma waggulu mu bisambi obwedda ali mu mapenzi ne ggaayi ono nga bwamuweweeta n’okumunyiganyiga ng’alinga amukola masaagi.

Waliwo n’ekitundu nga bali mu kinaabiro banaaba bombi ng’ate Bella waggulu talinaako kagoye. Kyokka abamu baatiddemu ne beebuuza nti ku mbeera eno eya Coronavirus gye balagira abantu okwewa amabanga bano taabakwate nga bali kabaani ku ndongo. Bella ye yayimba: ‘Ndoddo, Faasi, Kikiri, Ddoyi ddoyi, Kikutteyo, Wakholi’ n’endala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....