TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

By Vivien Nakitende

Added 30th March 2020

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Mus13 703x422

Akwatiddwa ng'ali ku mmotoka ya Poliisi

Poliisi y'e Lungujja ng'eri wamu ne poliisi ya Kampala mukadde, bakutte omusajja Salim Juba abadde asuza abaana ekirindi mu kiseera kino eky'obulwadde bwa COvid -19.

Ono okukwatibwa kuddiridde abatuuze mu zooni ya Musigula esangibwa e Lubaga okwekengera Salim olw'okusigala ng'asuza abaana bano abasukka mu 39 baagamba nti abadde abasomesa ddiini ya busiraamu.

Ono bamuzinzeeko mu maka mwabadde akuumira abaana kyokka nasooka agaana okuggulawo nebasalawo okuwalampa ekikomera nebagwa munda.

Basanzeeyo abaana abasukka mu 30,  babategeezezza nga Salim bweyabaleeta okusoma eddiini y'obusiraamu n'oluwarabu, bategeezezza nga bwebaava mu bitundu eby'enjawulo okuli; Gulu, Mbarara, Kayunga n'ebirala.

Richard Ssemugooma, oweby'okwerinda mu zooni ya Musigula e Lubaga agambye nti, okusinziira Ku mawulire gebaafunye,  Salim  yeefuula nti ayamba abatalina mwasirizi ng'agenda mu mizikiti egy'enjawulo mu byalo nabagamba nti agenda kubaweerera.

Agamba nti, okuviira ddala mu 2013 nga Salim atendeka abaana oluwarabu wabula bw'abasiibula tamanyi gyebalaga.

Agambye nti, ekisinze okubaggya mu mbeera ye Salim okujeemera ekiragiro kya pulezidenti, nagaana okuzza abaana mu bakadde baabwe okwetangira obulwadde bwa Corona Virus obukyase mu nsi yonna.

Abamu Ku baliranwa abataayagadde kubatuukiriza mannya bategeezezza nti, beekengera embeera z'omusajja ono okueera omuyeekera olw'engeri gy'ayisaamu abaana, tabakkiriza kwogeraganya na bantu ate bakozesa luwarabu lokka okwo kwossa okubasibira mu nyumba eno awatali kufuluma bweru.

Abaana bategeezezza nga bwebaleetebwa okusoma nti kyokka bwebatuuka eno babasomesa liwarabu lwokka na ddiini.

 ABANTU BYE BOOGERA

Richard Ssemugooma; tubadde tetusobola kutunula butunuzi nga tulaba embeera y'obulwadde egenda mumaaso mu ggwanga ate ng'abaana bakuumibwa kirindi mu nju emu, kyetuvudde tutemya Ku b'obuyinza, naye n'abazadde tusaba babeere n'obuvunanyizibwa nga balondoola n'okumanya ebifa Ku baana baabwe naddala mu mbeera eno gyetulimu.

Tonny Lumu; omusajja ono aludde nga mu kitundu abeeramu wabula.mu kiseera kino tubadde tetumusuubira kubeera na baana ng'ensi yonna eri ku bunkenke bwa Corona Virus kwekusalawo okwekubira enduulu eri ab'obuyinza.

Deo Kaggwa, yellow T-shirt; kansala wa munisipaali y'e Lubaga; Omusajja onto twamwekengera enkola ye ey'emirimu, abasoma oluwarabu na ddiini yokka, tabatwala mu masomero ga bulijjo, ate balinga basibe tabakkiriza kufuluma, ekitwewuunyisa nti yandibaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono