TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2020

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Pop13 703x422

Asaph Nuwahereza

Bya Stuart Yiga
 
POLIISI mu Kampala etandise okubuuliriza ku ngeri omuserikale waayo ayitibwa PC namba 64668 Asaph Niwahereza, gye yavudde mu mbeera n'akuba abaana be babiri amasasi omu ayitibwa Sulaiman, naamuttirawo ate omulala ayitibwa Samantha, n'addusibwa mu ddwaliro e Mulago ng'ali mu mbeera mbi. 
 
Bino byabaddewo ku Mmande, essaawa taano n'ekitundu ez'ekiro ekyakeesezza ku Lwokubiri mu Cargo Zooni, ku nju za Joseph.
 
Niwahereza, oluvannyuma naye yeekubye essasi n'afiirawo!
Kigambibwa nti Omupoliisi ono yasoose kufuna butakkaanya na mukaziwe ayitibwa Jamila Nanyombi, naye nga kwe baavudde bayombe,  kibadde tekinnaba kumanyika.
Omu ku baliraanwa baabwe ategeezezza nti  ky'Omuserikale ekigendererwakye kyabadde kyakubatta bonna n'abaana baabwe abasatu.
 
"Ekyayambye mukaziwe yadduse n'omwana waabwe asembayo okuba omuto bwe yabadde agenda ku Poliisi era nga kye kyabawonyezza okufa," Muliràanwa ataayagadde kumwatuukiriza mannya, bw'ategeezezza.
 
Kigambibwa nti Nangonga, basoose kweriga ne bba kyokka n'abandula oluggi n'addukira ku Poliisi y'e Kinnawattaka okuloopa bba eyabadde amwegezaamu naye okumutta.
    
Olwatuuse ku Poliisi, abaserikale baasitukiddemu kyokka ebyembi baagenze okutuuka nga ku Mulambo gwa Nuwahereza n'ogwa mutabaniwe Sulaiman, kwebakuba amaaso!
Poliisi egamba nti yafudde emmundu ekika kya Pisito, n'ebisosonkole by'amasasi bisatu awaabadde emirambo gyombi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono