TOP
  • Home
  • Amawulire
  • AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2020

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

Cap1 703x422

Abakulembeze mu Kalungi n'abakulira eby'obulamu nga bali mu meeting

Bya Ssennabulya Bagalaayina
 
ABOOBUYINZA n'abebyobulamu mu Kalungu batudde bukubirire okukkaanya butya bwe banakwasisaamu abatuuze ebiragiro bya Pulezidenti eby'obutatambulakiro mu nnaku zino ez'okulwanyisizaamu ekirwadde kya Corona Virus obutasasaana. 
 
 Lutuuziddwa RDC Caleb Tukayikiriza nga lwetabiddwamu CAO Phildah Nabirye, DHO Dr Daniel Ssentamu,LCV Richard Kyabaggu,Bofiisa b'amaggye ne Poliisi.
Dr Ssentamu awadde Bannakalungu essuubi bw'abategeezezza nti tebannafunayo mulwadde wa Corona Virus nga n'abaateberezebwa alipoota zavaayo nga balamu.
 
RDC Tukayikiriza agambye nti y'asabye amagye mu nkambi y'e Kasijagirwa gegatte ku Poliisi okulawuna disitulikiti yonna okunyweza Kafiyu nokuziyiza abamenyi b'abamateeka ng'ababbi. 

 

 
"Mbatuma naye temukuba abantu nti mubakwasisa mateeka wazira mweyambise obukugu obutaliimu kutulugunya",RDC bwe yakaatirizza.
 
Bakkaanyizza okukolera awamu okussisa mu nkola ebiragiro bya Pulezidenti okulaba ng'ekirwadde kino tekisensera mu Kalungu. 
 
 Wabula bekokkodde ku bbula ly'ebikozesebwa mu malwaliiro ne ssente okubeera ebyekekkwa nga tekibasobozesa kuggusa bulungi emirimo gy'obujanjabi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono