TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

By Saul Wokulira

Added 1st April 2020

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

Kt1 703x422

Abasangiddwa mu loogi nga basinda omukwano ng'ensonyi zibeetimbye

POLIISI e Kayunga etalaaze loogi mu kiro n'ekwata 17 bw'ebadde essa mu nkola ebiragiro bya pulezidenti Museveni n'esangamu abantu.
 
Poliisi ekebedde loogi ezisinga obungi era ne wankubadde abamu beewozezzangako nti bakozi ba mu zi loogi poliisi ebatutte.
 
Baakonkonyenga emu kw'emu wabula ku loogi ya Muwanga pub e Bukolooto poliisi yakonkonye okumala akabanga wabula nga beeremye okuggulawo.

Baatalaaze ebisenge by'abagenyi kimu ku kimu ne basangamu abaagalana abasinda omukwano

 
Mu kwongera okussa mu nkola ebiragiro bya Museveni amaduuka mangi e Kayunga tegagguddewo n'okusinga ago agatatunda byakulya.
 
Abasuubuzi naddala ab'amata bagasaze ebbeeyi okuva ku 1,800/- bulijjo kwebagatundira nga kati bagatunda 1,000/- buli liita era bagatundira ku mbalaza.

Abagatunda boogeddeko naffe ne batutegeeza nti tebalina ntambula egatuusa mu bitundu nga Busia ne Kampala bulijjo gye bagatunda.

 
RDC wa Kayunga Mwanamoiza Kikomeko agambye nti abakwatiddwa bagenda kubayimbula ku kakalu ka poliisi balivunaanibwa nga kooti zigguddewo.
 
Ono alabudde abantu abajeemera ebiragiro bya pulezidenti ate ne bamala ne bakuba poliisi amayinja nti bakikomye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono