TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza bigere okuva e Ntebe okudda e Kamuli

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza bigere okuva e Ntebe okudda e Kamuli

By Henry Nsubuga

Added 2nd April 2020

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza bigere okuva e Ntebe okudda e Kamuli ne bbebi we: Yakomye Mukono n'alaajanira Gavumenti okumuwa entambula emuzza ewaabwe

Mknwc1 703x422

Omuwala Nangobi ne bbebi we eyagobeddwa mukamaawe n'atambuza ebigere okuva Entebe okutuuka e Mukono ng'agenda Kamuli.

Omuwala Phiona Nangobi ow’emyaka 20 ng’abadde akola bwa yaaya Entebe n’omwanawe ow’emyezi esatu be bamu ku bali mu buzibu obwateekeddwawo olw’eby’entambula ebyayimiriziddwa olw’ekirwadde kya COVID 19.

Nangobi yagobeddwa mukamaawe nga tamuwadde wadde ekikumi ku nsimbi z’abadde akolera n’amusaba adde ewaabwe e Kamuli ng’agamba nti talina sente zaakumusasula olw’embeera eno egenda mu maaso mu gwanga.

Nangobi nga muwala wa Leo Mugabi ne Sarah Ataliba ab’e Kamuli yasangiddwa ku woofiisi ya RDC w’e Mukono Fred Bamwine ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okulondebwa omuzirakisa ng’agudde ku kkubo n’omwana mu bitundu by’e Mukono ku luguudo oluva e Kampala okugenda e Jinja.

Ono yategeezezza nga bwe yakedde ku ssaawa 10 mu kiro n’atandika okutambula okuva Entebe n’ayolekera kyokka bwe yatuuse e Mukono amaanyi ne gamuggwamu.

Nangobi ayagala afune obuyambi bw’entambula asobole okutuuka e Kamuli kyokka we tuviiridde ku woofiisi ya RDC nga tannafuna mukisa gumulaba olw’abantu abangi be yabadde ali mu kukolako.

Mu ngeri y’emu, ne ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono Andrew Ssenyonga yatutegeezezza amawulire ag’ennaku  nti omu ku bakyalabe omukulu ali mu America yazuuliddwa ng’alina ekirwadde kya COVID 19.

Wabula ssentebe yasazeewo okusirikira ebikwata ku mukyala ono ng’atya okumuboola ssaako ab’enganda ze nga bwe guli ensangi zino ku bantu abazuulibwa n’ekirwadde kino.

Ssenyonga yagambye nti ono embeera yamukwatira mu America gy’alina obutuuze n’ayagala okukomawo e Uganda kyokka mu kiseera ekyo nga Uganda amaze okuyimiriza ennyonyi zonna ezileeta abantu wano.

“Yalinnya ennyonyi n’emutwala e Nairobi mu Kenya kyokka wadde yagezaako nange ne njiogera ne buli mukulu mu ggwanga basobole okumukkiriza okuyingira mu ggwanga, kyagaana era n’amala ennaku nnya ng’asula ku kisaawe ky’ennyonyi e Nairobi,” Ssenyonga bwe yannyonnyodde.

Yagambye nti ekyavaamu kwe kutegeeza gavumenti ya America eyaweereza ennyonyi eyamunona n’emuzza mu America.

Yagasseeko nti abaddenga mu kalantiini ebbanga eryo lyonna kyokka eggulo yakebereddwa n’azuulibwa ng’alina ekirwadde kya COVID 19.

Yalabudde Bannayuganda abakyayita eby’ekirwadde kya coronavirus eby’olubalaato okuli n’abamu abagamba nti tekiyisa bubi baddugavu n’agamba nti kino basaanidde okukikomya bunnambiro bakole ebyo gavumenti ne minisitule y’eby’obulamu bye babalagidde.

Abantu abalala bangi abaasangiddwa ku makubo nga batambuzza ebigere ng’ate bava wala okuli e Kampala nga bagenda Kayunga ne Jinja ssaako ebitundu ebirala eby’ewala ennyo.

Sharif Ssemanda yasangiddwa ng’atambula ku luguudo lw’e Kayunga Kubbiri ng’ali ne munne bagenda Kabimbiri naye nga bagambye nti baabadde bava Luzira gye babadde bakolera mu internet Café.

Ne George William Kanamwanji yasangiddwa ku lw’e Kayunga ng’asitudde omwana n’omugugu ku mugongo n’agamba nti yabadde aggya mwana mu ddwaliro oluvannyuma lw’aba bodaboda okugaana okumutwala nga batya poliisi n’aba LDU ababakuba emiggo kwe kusalawo okutambuza ebigere.

N’abantu abalala bangi beeyiye ku woofiisi ya RDC Bamwine omuli abasawo, abakyala abali embuto abasuubira okuzaala mu kiseera kino, n’abantu ab’ebika eby’e njawulo nga basaba ebibaluwa ebinaabasobozesa okutambulira mu mmotoka z’obwannanyini batuuke mu bifo okuli amalwaliro n’ebirala nga tebafunye buzibu.

Bamwine yagambye nti ebipapula bino tagenda kubiwa buli muntu alowooza nti abyetaga okuleka ebo bokka abasengejjeddwa obulungi nga balambise bulungi ensonga gye babyetaaza.

Ate mu kibuga Mukono kyabadde kikalu ng’ebidduka bitono ddala n’abantu abatono abaabadde batambula nga beeyuna amawuudka okugula eby’okulya n’okufuna obuwereza obulala ng’obujjanjabi mu malwaliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono