TOP

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba emmere

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd April 2020

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa ekiragiro abantu okusigala awaka ku Mmande.

Bada 703x422

GAVUMENTI efulumizza pulaani
y’okugabira abanaku emmere
Pulezidenti Musevi gye yasuubizza
oluvannyuma lw’okuyisa
ekiragiro abantu okusigala awaka
ku Mmande.
Katikkiro wa Uganda, Dr.
Ruhakana Rugunda bwe yabadde
mu palamenti yategeezezza nti,
obukiiko butaano bwalondeddwa
okukola ku nsonga z’obulwadde
bwa Coronavirus era nga ku
bukiiko buno, akaalondeddwa
okukola ku mmere, kaabadde
kamalirizza enteekateeka zaako.
Yagambye nti, bagenda
kutandika okugaba emmere ku
Lwomukaaga nga April 4, 2020
nga baakutandikira mu bitundu
bya Kampala ne Wakiso.
Yagambye nti, okugaba emmere
kugenda kukolebwa ku mitendera
gya LC I nga bayambibwako
abeebyokwerinda omuli poliisi ne
UPDF n’agattako nti, abeebyokwerinda
bagenda kusigala mu kifo
awagabirwa emmere okuva lwe
kutandise okutuusa akawungeezi
lwe bamaliriza.
Yagasseeko nti, buli muntu
anaaba akakasiddwa okubeera
mu lubu lw’abo abeetaaga
okufuna emmere, wakuweebwa
obuwunga kkiro mukaaga
n’ebijanjaalo kkiro ssatu
n’omunnyo.
Yagasseeko nti, abakyala
ab’embuto n’abalwadde bajja
kuweebwa amata g’obuwunga
kkiro bbiri ne ssukaali kkiro bbiri.
Atali mulwadde, wa kukoma ku
buwunga na bijanjaalo.
Pulezidenti Museveni bwe
yabadde ayogera yagambye nti,
waliwo Bannayuganda abakola
mmere ya leero era bano, be
bagenda okuwa emmere ate abalala
abeesobola, bajja kwefaako.
Dr. Rugunda yagasseeko nti,
Gavumenti egenda kuwandiika
abasawo abalala 420 okwongera
ku muwendo gw’abasawo
abali ku mulimu gw’okulwanyisa
n’okujjanjaba abalwadde ba
Coronavirus.
Palamenti eggulo, yabadde
ekubaganya ebirowoozo ku
mbalirira eyennyongereza
ey’obuwumbi 284 ezaasabiddwa
okulwanyisa obulwadde bwa
Coronavirus.
Minisita w’ebyensimbi Matia
Kasaija yategeezezza palamenti
nti, ku ssente zino, ebitongole
by’ebyokwerinda byonna mu
ggwanga bya kuweebwako obuwumbi
81 okukola ku bikwekweto
byabyo mu kulwanyisa obulwadde
bwa Coronavirus ate minisitule
y’ebyobulamu, yakutwalako obuwumbi
62.
Gavumenti z’ebitundu, za kufuna
obuwumbi 36, abadduukirira
abagudde ku bibamba baakufuna
obuwumbi 59, minisitule
ya tekinologiya n’okuluhhamya
eggwanga yakufuna obuwumbi
14 ate KCCA obuwumbi 30. Kino
kyatabudde abakaka ne bawakanya
abeebyokwerinda okuweebwa
ssente ennyingi okusinga minisitule
y’ebyobulamu.
Wabula Kasija yagambye
nti, obuwumbi 62, minisitule
y’ebyobulamu ze yasaba okukola
ku byetaago byayo mu kulwanyisa
obulwadde bwa Coronavirus
n’agamba nti naye ssente endala
zijja kuba zongerwako okusinziira
ku bintu bwe binaaba bitambudde.
Ku Lwokubiri Pulezidenti bwe
yabadde ayogera eri eggwanga
yagambye nti, abalwadde kati
bali 44 oluvannyuma lw’abantu
abalala 11 okukakasibwa nti balina
obulwadde buno. Yagambye
nti, ku bantu 176 abaakebeddwa,
abaana ba Watoto 11 baabadde
bazuuliddwamu obulwadde bwa
Coronavirus.
ABEEBYOKWERINDA BOOGEDDE KU KAFIYU
Eggulo, ttiimu y’aboogezi beebitongole
by’ebyokwerinda mu
ggwanga okuli poliisi, amagye,
ekitongole ky’amakomera
n’omwogezi wa Gavumenti bannyonyodde
olunaku lwa kafiyu
olwasoose bwe lwatambudde.
Omwogezi wa poliisi, Fred
Enanga yagambye nti, abantu
baagondedde ebiragiro bya pulezidenti
abasinga ssaawa yagenze
okuwera emu nga bayingidde
amayumba gaabwe n’agamba nti,
waliwo abantu abatonotono be
baakutte kyokka baabayimbudde
ku makya ne bagenda.
Yagambye nti, e Mukono, baakutte
abantu 10 ne babasuza mu
weema wabula ku makya eggulo,
baabatadde n’agamba nti, ne
Wakiso wabaddeyo omuntu omu
owa bboodabooda eyakubiddwa
essasi ku kabina mu budde bwa
kafiyu.Mu kugezaako okutaasa
Kabos, Onyango yagasseeko nti,
baakutte mmotoka 35 ne pikipiki
27. Ate omwogezi wa UPDF, Brig.
Richard Karemire yagambye nti,
ebiragiro ebyateekeddwaawo, bya
kuyamba Bannayuganda bonna,
si bya muntu omu kubanga obulwadde
bwa Coronavirus busobola
okutta eggwanga lyonna ne
liggwaawo kye bavudde basalawo
okubutangira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono