TOP
  • Home
  • Amawulire
  • CORONAVIRUS: Ekitebe kya America kiwadde Uganda ebikozesebwa

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America kiwadde Uganda ebikozesebwa

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd April 2020

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Ugandakampalaext19441 703x422

Mu kiwandiiko ekitebe kya Amerika kye kyafulumizza eggulo, Amerika yategeezezza nga bw’ewadde Uganda obuyambi mu ngeri ez’enjawulo naddala tekinologiya w’ebyempuliziganya okukwataganya abalwanyisa ssennyiga ono.

Ekiwandiiko kyategeezezza nti bino byongeddwa ku bingi bye bazze bayamba Uganda mu by’obulamu nga n’omwaka oguwedde bassa obukadde 500 eza ddoola mu by’obulamu.

Ebitongole omuli ekya Center for Disease Control and Prevention (CDC), USAID, eky’ebyokwerinda n’ekirala ekiyamba Pulezidenti waayo okuyamba abalina obwetaavu obw’amangu kwe bagasse okuyamba Uganda mu kaweefube w’okulwanyisa ssennyiga ono kati eyaakakwata abantu 44.

Obuyambi mulimu;

Okunoonyereza ku ssennyiga ono, okuyamba ku bigwawo, labalatole ezikola ku by’okukebera abalwadde, eby’entambula, okutendeka abasawo, ebyuma ebikola ku by’empuliziganya okugatta ebitongole by’ebyobulamu, abalwanyisa ssennyiga ku disitulikiti n’emitendera eggya wansi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka