TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ziizino endwadde endala ezirina obubonero obufaanana obwa corona

Ziizino endwadde endala ezirina obubonero obufaanana obwa corona

By Ruth Nazziwa

Added 2nd April 2020

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa mu kalantiini okuziyiza okusiiga abalala ssinga babeera balina akawuka kano nga tekannayoleka bubonero bwonna.

Tabu 703x422

Abaabadde bapimibwa ebbugumu ly’omubiri mu kukebera obulwadde bwa coronavirus.

Akwatiddwa akawuka ka ssennyiga omukambwe afuna omusujja oba okwokya omubiri, ekifuba ekikalu, ssennyiga ayiika, okussa obubi, okunafuwa omubiri n’okuddukana. Ku buno agattako obutayagala kulya n’ennyindo obutawunyiriza bulungi.

Obubonero buno bwefaanaanyiriza n’endwadde endala nnyingi z’osaanye okumanya osobole okuyamba omuntu wo ng’azifunye mu kifo ky’okudduka n’omuleka mu buzibu ng’olowooza alina ssennyiga ono.

omusomesa era nga musawo w’abaana e Mulago agamba nti, obubonero omuli ssennyiga, ekifuba eky’amaanyi nga kikalu, okussa obubi, omusujja, okuddukana, tubiraba mu bantu abalina ssennyiga omukambwe era ng’obubonero bwe bumu bweyoleka ne mu bantu abalina endwadde endala nga zino:

1 Akafuba: Moses Ssali amanyiddwa nga Bebe Cool ennaku zino ali mu kaweefube ow’okulwanyisa akafuba mu bantu. Agamba nti, ekisinze okuleeta obuzibu be bantu okuyingiza eddogo mu bulwadde bangi ne bafa nga tebayambiddwa basawo ng’ate akafuba kawona.

Ekisinga obubi, n’akafuba kakwata nga bwe kiri ku ssennyiga omukambwe ng’omuntu omu asobola okumalawo ekitundu ng’abasiiga kubanga akawuka katambulira mu mpewo.

Annyonnyola nti, ssennyiga omukambwe nga bw’akosa amawuggwe n’akafuba bwe kakola ng’okafunye, obuzibu ssinga akukwata ng’olina obulwadde nga akafuba, akukosa mangu tomanya oyinza n’okufa kuba abaserikale b’omubiri babeera banafuye nga tebasobola kulwanyisa kawuka kano.

N’olwekyo nga bwe twekebeza ssennyiga omukambwe, twekebeze n’akafuba tuleme obutakasaasaanya ssinga tukalina kuba ate kyongera okuwa ssennyiga omukambwe omwagaanya okukwata oyo akafunye ekiwa obuzibu abajjanjaba ku bafunye coronavirus. Alina akafuba funa eddagala ate olimire ng’omusawo wo bw’akulagira n’ekirala lya bwereere mu malwaliro ga gavumenti wonna mu ggwanga.

Akamu ku bubonero kw’oyinza okumanyira ng’olina akafuba kwe kutuuyana ekisusse mu kiro nga weebase n’okufuna olusujjasujja buli kawungeezi.

2 Asima: Omuntu alina asima ssinga atuuka awantu n’ayingiza empewo erimu obucaafu oba “Nze Jane Nansubuga, omutuuze mu zooni ya Kabaawo- Mutundwe, natandika okukolola ate nga saagala kulya ne nkogga mu nnaku ntono ne baze n’anziruka. Nafunanga ebbugumu mu bigere n’ensanjabavu mu bulago.

Nakeberebwa ne nzuulibwa okuba n’akafuba, era buli muntu eyakimanyanga ng’anziruka nga bwe bakola ku bafunye ssennyiga omukambwe nga n’ebikozesebwa ebyange byawulwa mu by’abalala.

Wabula natandisibwa ku ddagala era nawona. Wabula nayambibwa nnyo ab’ekitongole kya Amber Heart Foundation era nasalawo okuyamba mu kulwanyisa akafuba nga mpita mu kusomesa abantu abalina akafuba n’abatalina mu bitundu byabwe gye bali,” Nansubuga bw’amaliriza.

Abantu banzirukanga lwa kafuba akankolozanga obuwuka, oluusi n’olufufugge lw’ebimuli oba ebisolo, okuwunyiriza kaliffuuwa n’ebirala asobola okuziyira n’abeera ng’alina ssennyiga omukambwe. Wabula owa asima tatera kufuna musujja nga bwe kiri ku ba ssennyiga omukambwe.

3 Lubyamira: Abantu abamu babadde bagamba nti, ssennyiga omukambwe ye lubyamira owaffe owabulijjo ekikyamu. Lubyamira akwata abantu abakulu n’abato era obubonero bwe bufaananira ddala n’obwa ssennyiga omukambwe noolwekyo weekebeze omanye ekituufu ofune obujjanjabi.

4 Ssennyiga n’ekifuba: Ssennyiga owaabulijjo ayasimuza n’okukulukusa eminyira nga bwe kiri ku ssennyiga omukambwe, era alinnyisa n’ebbugumu ly’omubiri ssaako okugugonza, okufeekeera n’okumalako omuntu ekyagala okulya. Ate emirundi egisinga avaako n’ekifuba okukuluma. Enjawulo eriwo nti, ekifuba ekyabulijjo kivunda n’okolola ng’ofulumya ekikolondolwa ne kyawukana ku kya ssennyiga omukambwe ekibeera ekikalu.

5 Omusujja gw’ensiri: Guno gugonza omubiri, okulinnyisa ebbugumu, okusesema n’okuddukana, n’obubonero obulala. Wabula ate kano kayinza okubeera akabonero ka ssennyiga omukambwe.

Dr. Sabrina annyonnyola nti, ekyawula ssennyiga omukambwe ku ndwadde endala kiri nti, omuntu alwadde coronavirus, ebiseera ebisinga abeera yaliko n’omuntu alina akawuka ako oba okubeera mu kifo we kali mu bungi nga yakwata ku kintu akawuka we kaali kasirikidde.

Obuzibu nti, abafunye ssennyiga omukambwe basigala basiiga wadde nga tebannalaga bubonero bwonna kuba kitwala wakati w’ennaku 14 ne 21 obubonero okweyoleka.

Kizuuliddwa ng’abantu 80 ku buli 100 abafuna obulwadde buno basobola okubulwanyisa ne bawona.

Naye abantu 20 ku buli 100, baba bubi nga beetaaga okugenda mu ddwaaliro, abantu bataano ku buli 100 babeera baayi nga bwe batayambibwako mu kussa, bafa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono