TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa akawuka ka corona?

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa akawuka ka corona?

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd April 2020

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tra 703x422

Wabula kye bagezaako okukola kwe kugezesa eddagala eririwo eribadde lijjanjaba endwadde ez’enjawulo okulaba oba nga lisobola okujjanjaba coronavirus .

Dr Francis Kiweewa munnassaayansi okuva mu kitongole ekikola okunoonyereza ku kawuka ka siriimu ekya Makerere University Walter Reed Project Research annyonnyola nti okunoonyereza okubadde kukolebwa mu nsi z’ebweru nga bageraageranya bika by’eddagala lya mirundi ena okulaba oba eddagala eryo lisobola okujjanjaba coronavirus.

Ebika by’eddagala ebiri mu kugezesebwa mulimu ekya Remdesivir, Chloroquine ne Hyhroxychloroquine ne Kaletra nga agattiddwa wamu ne Interon-beta “kaletra”.

Wabula okunoonyereza kulaga nti eddagala eriweweeza ku kawuka ka siriimu erya Lopinavir/ Ritonavir, “kaletra” terikola mu balwadde be bagezeseza okusinziira ku kunoonyereza okwemirundi ebiri okwakolebwa, ekitegeeza nti eddagala lino teririna njawulo gye ligattako.

Wabula okunoonyereza kukyagenda mu maaso okulaba ng’eddagala eryo libaako ekyenjawulo kye liyinza okuyambako mu kujjanjaba coronavirus.

Wabula mu kiseera kino, ekitongole ky’ebyobulamu eky’ensi yonna ekya World Health Organisation – WHO kiriko okunoonyereza kwe kyatandise mu kugeraageranya eddagala lya ARV’S erya lopinavir/ ritonavir nga baligeraageranya ne Remdesivir ne Chloroquine era ng’okunoonyereza kuno kutandika butandisi .

Okunoonyereza kuno kugenda kubeera mu nsi eziwerako nga ne Uganda mwogitwalide.

Chroloquine; Waliwo okuteebereza nti oba olyawo eddagala lino lisobola okukola ku balwadde ba coronavirus naye nga tekinakakasibwa. Wabula mu nsi nga China n’abasawo abamu bamukozesezzaako ne balaba nti abalwadde baabwe bawonye .

Naye ekyo tekitegeeza nti eddagala lino liwonya coronavirus kubanga waliwo n’abalwadde abalala abawonye nga tebabajjanjabisizza chroloquine. Wabula eddagala lino liyamba okutta akawuka akaleeta omusujja ekiyambako omuntu okuwona omusujja .

Panadol Mu bantu abalina obulwadde bwa COVID 19, panadol ayambako mu kujjanjaba obubonero omuntu bw’abeera afunye naddala okukendeeza obulumi n’ebbugumu ly’omubiri omubiri gweriba lisitudde olw’obulwadde buno.

Wabula ku bika by’eddagala lino lyonna, tewali ddagala ttuufu lyakakasibwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 mu nsi yonna.

Era abantu beewale okulyewa nga basinziira ku ngambo ze bawulira n’ekigendererwa ky’okwejanjaba coronavirus.

Naye bw’olaba omuntu yenna n’obubonero obwekuusa ku bulwadde bwa coronavirus, asindikibwe mu ddwaaliro eddene erikuli okumpi abasawo bamwekenneenye, bwe kizuulibwa ng’alina coronavirus ajjanjabibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono