TOP

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd April 2020

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana ne beerumiriza mu maaso ga poliisi.

Cor 703x422

Maama w’omugenzi Baguma n’abatuuze nga bakaaba. Baguma bwabadde afaanana.

Abatuuze b’e Kiriri mu ggombolola y’e Mpenja mu Gomba baguddemu entiisa bwe bagudde ku mulambo gwa mutuuze munnaabwe eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya kya kaabuyonjo emmanju w’ekyuma ky’emmwaanyi eky’omugagga w’omu kitundu.

Henry Baguma 25, abadde avuga bboodabbooda ye yattiddwa ne baamusalako ebitundu by’ekyama n’olulimi, omulambo gwe ne bagusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma kya Kiriri Coffee Factory.

Okutta Baguma baakozesezza ebiyinja ebinene, embukuuli n’ekiso kye baamusazizza mu bulago ne balembeka omusaayi ne bamusalako ebitundu bye eby’ekyama, olulimi n’emimwa.

Abatuuze okulaba omulambo baasoose kusamba nsiko ne gubabula kyokka poliisi bwe yakutte omu ku mikwano gye Henry Walusimbi amanyiddwa nga musalamala n’alonkoma banne basatu abaayogedde we baakwese omulambo.

ENGERI GYE BAALUSE OLUKWE OKUSADDAAKO BAGUMA;

Nnannyini kyuma ewaasangiddwa omulambo Ssaalongo Ephraim Bbosa yagambye nti ekinnya kya kaabuyonjo si kikye era abadde takimanyi.

Yagambye nti engeri gy’atasula ku kyuma talina kye yawulidde wabula n’asaba poliisi okukola okunoonyereza okumala ng’eyita mu bakwate kuba kigambibwa nti bakkirizza okukola obutemu buno.

Owaamawulire ku lukiiko lw’e kyalo kino Husein Batte yagambye nti buno si bubbi kubanga ppikippiki ye bagireseewo era tebabbye kintu kyonna ekiraga

Be battidde mu mmotoka baabadde bagenze kubanja

nti mwabaddemu engeri y’okusaddaaka bwatyo n’asaba poliisi okunoonyereza ekituufu.

Avumiridde abasima ebinnya bya kaabuyonjo ne batabibbikako nti kino kyanguyiza abatemu nga bano okufuna we bakweka abantu be batemudde era n’asaba abavunaanyizibwa ku nsonga okuvunaana abantu nga bano.

Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Lydia Tushabe yasabye abatuuze obutatwalira mateeka mu ngalo kubanga abakwate baakuyamba okuzuula amazima. Bagguddwako ogw’okutta ku ffayiro nnamba CRB;

028/2020.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono