TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye ne Corona n'amuwangula: Bamusiibudde mu ddwaaliro mu Amerika

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye ne Corona n'amuwangula: Bamusiibudde mu ddwaaliro mu Amerika

By Martin Ndijjo

Added 2nd April 2020

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba oluvannyuma lw'okukwatibwa ekirwadde kya coronavirus.

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 703x422

Grace Ssekamatte

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba oluvannyuma lw'okukwatibwa ekirwadde kya coronavirus.

Ssekamatte yasiibuddwa okuva mu ddwaaliro lya, Boston Medical Centre mu kibuga Boston ekya Amerika oluvannyuma lw'embeera ye okutereeramu kyokka aweereddwa ebiragiro ebikakali omuli okwekuumira awaka nga tafuluma okumala ennaku endala 14 ng'abasawo bwe bongera okwetegereeza embeera ye.

Okumusiibula kiddiridde omujjuzo gw'abalwadde abaakwatiddwa Coronavirus okweyongera era nga kati abasawo kye bakola kwe kusiibula abo ababeera batereddemu ne babasindika mu bifo gye basobola okwekuumira nga bali bokka 

Embeera ya Ssekamate okulongooka ewadde abooluganda, abawagizi n'ab'emikwano essuubi nti omuntu waabwe yandiwona bakira abamu bamuwereeza obubaka obumugumya n'okumuzzaamu amaanyi.

Ssekamate gwe twayogedde naye ku ssimu okuva e Lexington- Boston mu Amerika yasoose kwebaza Katonda n'abasawo olw'obujjanjabi obwamaanyi bwe bamuwadde okutuuka mu mbeera kati gy'alimu.

Ono yaweebwa ekitanda mu ddwaaliro ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde ng'ali mu mbeera mbi oluvannyuma lw'okufuna omusujja ogw'amaanyi, okwokyerera n'ekifuba era mu kumukebera ne bakizuula nti alina coronavirus.

Wabula Ssekamate agamba mu kiseera kino wadde alinawo enjawulo, talina maanyi mu mubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono