TOP

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa

By Henry Nsubuga

Added 2nd April 2020

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa mu kitiibwa.

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 703x422

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa mu kitiibwa.

Okuziikibwa kwa Ssekiboobo kwetabiddwako abantu ba lubatu ddala. Bano kubaddeko bannaddiini abakulembeddwa Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda Stephen Kazimba Mugalu ng'ayambibwako omulabirizi w'e Mukono James William Ssebaggala n'abalala, abakungu ba gavumenti abakulembeddwa Minisita omubeezi ow'amazzi Ronald Kibuule, ssentebe w'akabondo k'ak'ababaka ba palamenti abava mu Buganda, Johnson Muyanja Ssenyonga, abakungu ba Kabaka okubadde Ssaabaganzi, Ssekiboobo Elijah Boogere Lubanga Mulembya, aba ffamire n'ab'emikwano. 

Olunaku lw'eggulo RDC w'e Mukono Fred Bamwine yategeezezza nti abantu 30 bokka be balina okwetaba mu okuziika kuno ate nga balina okugoberera amateeka agatewkebwawo okwewala okusasaanya elirwadde kya Corona virus.

Bp. Ssebaggala ng'abuulira ayogedde ku Ssekiboobo ng'abadde omusajja emmekete aweerezza n'omutima gumu nga teyeebalira ekanisa ate n'obwakabaka bwa Buganda.

Ye Ssaabalabirizi Kazimba asabye Bannayuganda okwongera amaanyi mu kaweefube w'okwetangira ekirwadde kya Corona virus n'agamba nti buli omu bw'anaakola ekyo ekimusuubirwamu kino kyakusobolwa okulinnyibwa ku nfeete.

Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni mu bubaka bw'atisse Minisita Kibuule agambye nti Kigongo abadde muweereza mulungi abadde n'omwoyo gw'eggwanga ng'alumirirwa abalala sso nga teyeefaako yekka.

Museveni awaddeyo amabugo ga bukadde 10 mu mpeke nga zino Kibuule azikwasizza nnamwandu ow'empeta, Sarah Kigongo.

Ssekiboobo agalamiziddwa ku bijja bya bajjajaabe ku kyalo Nneekooyedde mu Nakifuma mu ggombolola y'e Kimenyedde mu disitulikiti y'e Mukono.

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono